1
Mat 16:24
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
Awo Yezu n'agamba abayigirizwa be nti: “Obanga oli ayagala okungoberera, yeerese, yeetikke omusaalaba gwe, angoberere.
Compare
Explore Mat 16:24
2
Mat 16:18
Nange ka nkubuulire, oli Lwazi, ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekleziya wange; n'emiryango gy'emagombe tegirimusobola.
Explore Mat 16:18
3
Mat 16:19
Era ndikuwa ebisumuluzo by'obwakabaka bw'omu ggulu; kyonna ky'olisiba ku nsi, nga ne mu ggulu kisibiddwa; kyonna ky'olisumulula ku nsi, nga ne mu ggulu kisumuluddwa.”
Explore Mat 16:19
4
Mat 16:25
Kubanga buli alyagala okuwonya obulamu bwe, alibubuza; naye buli alibuza obulamu bwe okubeera nze, alibusanga.
Explore Mat 16:25
5
Mat 16:26
Kale omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, sso n'afiirwa obulamu bwe? Ye omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?
Explore Mat 16:26
6
Mat 16:15-16
N'abagamba nti: “Naye nga mmwe mugamba nze ani?” Simoni Petero n'ayanukula nti: “Ggwe Kristu, Omwana wa Katonda omulamu.”
Explore Mat 16:15-16
7
Mat 16:17
Yezu n'amuddamu nti: “Simoni mutabani wa Yona, weesiimye, kubanga omubiri n'omusaayi si bye byakubikkulidde ekyo, wabula Kitange ali mu ggulu.
Explore Mat 16:17