YouVersion Logo
Search Icon

Mat 15

15
1 # Mar 7,1-23. Awo Abafarisaayo n'abawandiisi ne bava e Yeruzaalemu, ne bajja awali Yezu, ne bagamba nti: 2“Abayigirizwa bo ekibamenyesa empisa z'abakadde kiki! Kubanga tebanaaba mu ngalo nga bagenda okulya emmere.” 3N'abaanukula nti: “Nammwe ekibamenyesa ekiragiro kya Katonda okubeera empisa zammwe kiki? 4#Okuv 20,12; 21,17; Abal 20,9; Et 7,16.Kale Katonda yagamba nti: ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa.’ Ate nti: ‘Avumanga kitaawe oba nnyina, wa kuttibwanga.’ 5Sso mmwe mugamba nti: ‘Oli bw'agambanga kitaawe oba nnyina nti: “Kye wandinfunyeeko kati kitone,”#15,5 Oba nti: kyewandibadde onfunako kitoneddwa Katonda. oyo teyeetaaga kuwa kitaawe oba nnyina kitiibwa.’ 6Ne mudibya mutyo ekigambo kya Katonda#15,6 Oba: etteeka lya Katonda. olw'okubeera empisa zammwe. 7Bakuusa mmwe, Yisaaya yalanga bulungi ku mmwe bwe yagamba nti:
8 # Yis 29,13. “ ‘Abantu bano bampa ekitiibwa kya ku mumwa bumwa;
emitima gyabwe gindi wala.
9Okusinza kwe bansinzaamu temuli kantu;
enjigiriza gye bayigiriza mateeka g'abantu.’ ”
10Awo n'ayita ekibiina w'ali n'agamba nti: “Muwulire era mutegeere. 11Ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu, wabula ekifuluma mu kamwa; ekyo kye kyonoona omuntu.” 12Awo abayigirizwa be ne basembera ne bamugamba nti: “Omanyi ng'Abafarisaayo banyiize bwe bawulidde ekigambo ekyo?” 13Ye n'ayanukula n'agamba nti: “Buli muti Kitange ali mu ggulu, gw'atasimba, gulisimbulwa. 14#Luk 6,39.Mubaleke abo; bakulembeze abazibe b'amaaso. Sso muzibe bw'akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu bunnya.” 15Petero n'addamu nti: “Tuvvuunule olugero luno.” 16N'agamba nti: “Nammwe temunnaba kutegeera? 17Temulaba nga buli kintu ekiyingira mu kamwa, kigenda mu lubuto, ne kisuulibwa ebweru mu kiyigo? 18#12,34.Sso ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; ebyo bye byonoona omuntu. 19Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okulimba mu kujulira, n'okuwaayiriza. 20Ebyo bye byonoona omuntu; naye okulya n'engalo ezitali nnaabe tekyonoona muntu.”
Omukazi Omukanaani
21 # Mar 7,24-30. Yezu n'ava awo n'alaga mu bitundu by'e Tiiro ne Sidoni. 22Awo omukazi Omukanaani okuva erudda eyo, n'ajja, n'akoowoola ng'agamba nti: “Nsaasira, Mukama, Omwana wa Dawudi; muwala wange ajoonyesebwa nnyo omwoyo omubi.” 23Naye ye n'atamunyega kigambo. Abayigirizwa be ne basembera ne bamwegayirira nga bagamba nti: “Mugobe; ajja atuleekaanira.” 24Ye n'ayanukula nti: “Saatumirwa balala, wabula endiga ez'omu nnyumba ya Yisirayeli ezaabula.” 25Omukazi n'ajja n'amuvunnamira n'agamba nti: “Mukama, nnyamba.” 26N'ayanukula n'agamba nti: “Si kirungi kuddira mmere y'abaana n'ogikasukira embwa.” 27Omukazi n'agamba nti: “Weewaawo, Mukama, naye era n'embwa zirya obukunkumuka obuva ku mmeeza ya bakama baazo.” 28Awo Yezu n'ayanukula nti: “Mukazi ggwe, okukkiriza kwo nga kunene! Kale kikukolerwe nga bw'oyagala.” Amangu ago omuwala n'awona.
Yezu awonya abantu enkumu
29 # Mar 7,31-37. Yezu n'ava awo, n'ayitira ku nnyanja y'e Galilaaya. N'ayambuka mu nsozi, n'atuula eyo. 30Ebibiina binene ne bijja w'ali nga baleese abalema, abagongobavu, bamuzibe, bakasiru, n'abalala bangi. Ne babassa ku bigere bye n'abawonya; 31ebibiina ne byewuunya ng'abantu balaba bakasiru bayogera, abagongobavu nga bazzeewo, abalema nga batambula, ne bamuzibe nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Yisirayeli.
Yezu akkusa enkumi ennya
32 # Mar 8,1-10; 14,13-21. Awo Yezu n'ayita abayigirizwa be w'ali, n'abagamba nti: “Ekibiina kino kinkwasa ekisa; kubanga babadde nange kati ennaku ssatu, ate nga tebalina kye balya. Saagala kubasiibula njala, sikulwa nga bagwa ku kkubo.” 33Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Tunaggya wa mu ddungu muno emigaati emingi bwe gityo eginakkusa ekibiina ekinene bwe kiti?” 34Yezu n'abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamugamba nti: “Musanvu n'obwennyanja butono.” 35Awo n'alagira ekibiina okukkalira wansi. 36N'akwata emigaati omusanvu n'ebyennyanja, ne yeebaza, n'abimenyamu, n'akwasa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ekibiina. 37Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebisero musanvu ebijjudde obutundutundu obwalema. 38Abaalya baawera abasajja enkumi nnya, obutabala bakazi na baana. 39Bwe yamala okusiibula ekibiina, n'asaabala mu lyato n'agenda mu kitundu ky'e Magadani.
Asabibwa akabonero ak'omu ggulu

Currently Selected:

Mat 15: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in