YouVersion Logo
Search Icon

Mat 13

13
D. ENGERO KU BWAKABAKA OBW'OMU GGULU
1 # Mar 4,1-9; Luk 8,4-8. Ku lunaku olwo #5,1-3.Yezu yava mu nnyumba, n'agenda n'atuula ku mabbali g'ennyanja. 2#Luk 5,1-3.Ebibiina binene ne bimukuŋŋaanirako, ye kwe kusaabala mu lyato n'atuula omwo, ekibiina kyonna ne kiyimirira ku lubalama, 3n'ababuulira bingi mu ngero; n'agamba nti:
Olugero lw'omusizi
“Omusizi yafuluma okusiga ensigo. 4Yali asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku kkubo, ebinyonyi by'omu bbanga ne bijja ne bizirya. 5Endala ne zigwa ku luyinjayinja we zitaalina ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu; 6enjuba bwe yavaayo, ne ziwotoka; olw'obutaba na mirandira, ne zikala. 7Endala ne zigwa mu maggwa; amaggwa ne gaduuma, ne gazifuuwa. 8Endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zissaako ebirimba: ekimu nga kirimu kikumi, ekirala nkaaga n'ekirala asatu. 9Alina amatu awulire.”
10 # Mar 8,18; Yow 12,39-41; Ebik 28,26-27. Awo abayigirizwa be ne basembera w'ali, ne bamubuuza nti: “Lwaki oyogera nabo mu ngero?” 11Ye n'ayanukula nti: “Mmwe mwaweebwa okumanya ebyama by'obwakabaka obw'omu ggulu; naye bali tekyabaweebwa, 12#25,29; Mar 4,25; Luk 8,18; 19,26.kubanga buli alina alyongerwako n'aba na biyitirivu; naye atalina, ne ky'alina kirimuggyibwako. 13Kyenva njogera nabo mu ngero, kubanga balaba, naye tebalaba; bawulira, naye tebawulira wadde okutegeera. 14#Yis 6,9-10.Yisaaya kye yalanga kituukiridde bulungi ku bo, bwe yagamba nti:
“ ‘Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera;
n'okulaba muliraba, naye temulyetegereza;
15kubanga omutima gw'abantu bano gugubye,
n'amatu gaabwe gazibuwaliddwa okuwulira,
n'amaaso gaabwe bagazibirizza;
baleme kulaba n'amaaso gaabwe,
na kuwulira n'amatu gaabwe,
baleme na kutegeera na mutima gwabwe,
ne badda ne mbawonya.’
16 # Luk 10,23-24. Naye amaaso agammwe geesiimye kubanga galaba, n'amatu gammwe kubanga gawulira. 17Mazima mbagamba nti bangi abalanzi n'abantu abatuukirivu beegomba okulaba bye mulaba ne batabiraba, n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira. 18#Mar 4,13-20; Luk 8,11-15.Kale nno mmwe muwulire olugero lw'omusizi:
19“Buli awulira ekigambo ky'obwakabaka n'atakitegeera, omubi ajja n'akwakkula ekisigiddwa mu mutima gwe; oyo ye nsigo eyagwa ku kkubo. 20Naye eyasigibwa mu luyinjayinja; y'oyo awulira ekigambo n'akikkiriza mangu n'essanyu, 21kyokka talina mu ye mirandira, abeerawo akabanga katono; naye bwe wagwawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, yeesittala mangu. 22Ate eyasigibwa mu maggwa, y'oyo awulira ekigambo, naye nno okweraliikirira okw'ensi n'okuguya okw'obugagga, bituga ekigambo ne kitabala. 23Eyasigibwa mu ttaka eddungi, y'oyo awulira ekigambo n'akitegeera; oyo nno abalira ddala ebibala, n'aleeta mu kimu kikumi, ne mu kirala nkaaga, ne mu kirala amakumi asatu.”
Ekiddo ekibi
24 # Mar 4,26-29. N'abaleetera n'olugero olulala: n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyirizibwa omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye. 25Abantu bwe baali beebase, omulabe we n'ajja, n'amansa zizaniya mu ŋŋano, n'agenda. 26Eŋŋano bwe yagenda ekula, ng'essizzaako n'ebirimba, zizaniya nayo n'erabika. 27Abaweereza ba nnannyinimu ne bajja, ne bamugamba nti: ‘Ssebo, mu nnimiro tewasigamu nsigo nnungi, ate erina etya zizaniya?’ 28Ye n'abagamba nti: ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaweereza ne bamugamba nti: ‘Oyagala tugende tugikuŋŋaanyeemu?’ 29Ye n'agamba nti: ‘Nedda; kubanga mu kukuŋŋaanyaamu zizaniya, mwandikuuliramu n'eŋŋano. 30Muleke byombi bikulire wamu okutuusa ku makungula. Kale nno ku makungula, ndigamba abakunguzi nti: “Musooke mukuŋŋaanyeemu zizaniya, mugisibe ebinywa, egende eyokebwe; yo eŋŋano mugikuŋŋaanyize mu byagi byange.” ’ ”
Empeke ya kaladaali
31 # Mar 4,30-32; Luk 13,18-19; Mat 17,20. N'abaleetera n'olugero olulala, n'agamba nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'empeke ya kaladaali, omuntu gye yaddira n'agisiga mu nnimiro ye. 32Weewaawo ntono okusinga ensigo zonna, naye bw'ekula eba mpanvu okusinga emiddo gyonna, efuuka muti, n'ebinyonyi eby'omu bbanga ne bijja ne bisula mu matabi gaagwo.”
Ekizimbulukusa
33N'abaleetera n'olugero olulala nti: “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekizimbulukusa omukazi kye yaddira n'akitabula mu bipimo by'obutta bisatu, okutuusa bwonna lwe bwazimbulukuka.”
34Ebyo byonna Yezu yabibuulira ebibiina mu ngero; teyabagambanga kintu wabula mu ngero. 35Omulanzi kye yayogera kituukirire nti:
“Nzija kwasamya akamwa kange mu ngero;
ndyatula ebyakisibwa okuva ensi lwe yabangibwawo.”
36Awo Yezu n'asiibula ekibiina, n'ayingira mu nnyumba; abayigirizwa be ne basembera w'ali ne bamugamba nti: “Tuvvuunule olugero lwa zizaniya ey'omu nnimiro.” 37Ye n'ayanukula n'abagamba nti: “Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'Omuntu; 38ate ennimiro ye nsi; ensigo ennungi be baana b'obwakabaka; zizaniya be baana b'omubi; 39omulabe asiga zizaniya ye Sitaani; amakungula ye nkomerero y'ensi; abakunguzi be bamalayika.
40“Awo nno, nga zizaniya bw'ekuŋŋaanyizibwa n'eyokebwa omuliro, bwe guliba ne ku nkomerero y'ensi. 41Omwana w'Omuntu alituma bamalayika be, ne bakuŋŋaanyaamu mu bwakabaka bwe ebyesittazo byonna n'abo bonna abakola ebibi, 42#8,12; 13,50; 22,13; 24,51; 25,30; Luk 4,16-30.ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji. 43Bo abatuukirivu baliyakaayakana ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.
Obugagga obukise
44“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekyobugagga ekikusike mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, akikweka; ate olw'essanyu, agenda n'atunda byonna by'aba nabyo, n'agula ennimiro eyo.
45“Era obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'omuntu omusuubuzi anoonya amalulu amalungi; 46bw'asanga eddulu erimu ery'omuwendo omunene, agenda n'atunda byonna by'alina, n'aligula.
Ekiragala
47“Era obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekiragala ekisuulibwa mu nnyanja, ne kikukumbiriza ebyennyanja ebya buli ngeri. 48Bwe kimala okujjula, ne bakisika, ne batuula ku lubalama, ne balondamu ebirungi nga babissa mu nkanga, naye ebibi ne babisuula ebbali. 49Bwe guliba gutyo ne ku nkomerero y'emirembe; bamalayika balijja ne baawula ababi mu batuukirivu, 50ne babasuula mu kabiga ak'omuliro, omuliba okukaaba n'okuluma obujiji.
Okufundikira engero
51“Ebyo byonna mubitegedde?” Ne bamugamba nti “Yee.” 52N'abagamba nti: “Awo nno buli muwandiisi atendekeddwa mu by'obwakabaka obw'omu ggulu afaanana nga nnannyinimu aggya mu tterekero lye ebiggya n'ebikadde.”
F. EBYEWUUNYO EBIRALA N'OKUBUULIRIRA ABAYIGIRIZWA
Yezu anyoomebwa abeewaabwe
53Yezu bwe yamala okusirissa engero ezo, n'ava awo; 54#Mar 6,1-6; Luk 4,16-30.n'ajja mu nsi yaboobwe, nabayigiriza mu sinaagooga zaabwe. Ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Omuntu ono yaggya wa amagezi gati, n'ebikolwa bino eby'amaanyi? 55Ono si ye mutabani w'omubazzi? Nnyina tayitibwa Mariya? Baganda be si ye Yakobo ne Yozefu, ne Simoni ne Yuda? 56Bannyina bonna tebali kwaffe? Ebyo byonna kale yabiggya wa?” 57Ne bamwesittalako. Naye Yezu n'abagamba nti: “Omulanzi tabulwa kitiibwa, wabula mu kyalo kyaboobwe ne mu nnyumba y'ewaabwe.” 58Eyo teyakolerayo bikolwa bya maanyi bingi olw'obutakkiriza bwabwe.
Okuttibwa kwa Yowanna Batista

Currently Selected:

Mat 13: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in