Mat 14
14
1 #
Mar 6,14-16; Luk 9,7-9; Mar 8,28. Mu budde obwo, Erode omufuzi atwala ekitundu yawulira ettutumu lya Yezu, 2n'agamba abaweereza be nti: “Ono ye Yowanna Batista; azuukidde mu bafu, amaanyi ago kyegava gakola mu ye.” 3#Luk 3,19-20.Kubanga Erode yali akutte Yowanna n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera, olw'okubeera Erodiya muka Filippo muganda we, 4#Abal 18,16; 20,21.kubanga Yowanna yamugambanga nti: “Tokkirizibwa kumwezza.”
5 #
Mar 6,19-29. Yayagalanga okumutta, naye n'atya abantu, kubanga baali bamutwala ng'omulanzi. 6Naye olunaku olw'amazaalibwa ga Erode bwe lwatuuka, muwala wa Erodiya n'azina mu ddiiro, n'asanyusa Erode. 7Erode n'atuuka n'okumusuubiza nga bw'alayira nti ajja kumuwa kyonna ky'anaasaba. 8Ng'afukuutiriddwa nnyina, n'agamba nti: “Mpa wano kati omutwe gwa Yowanna Batista ku ssowaani.” 9Kabaka n'anakuwala. Naye olw'okubeera ebirayiro bye yali alayidde n'olw'okubeera abagenyi be, n'alagira gumuweebwe. 10N'atuma, n'atemako Yowanna omutwe mu kkomera, 11omutwe gwe ne guleetebwa ku ssowaani, ne guweebwa omuwala, ye n'agutwalira nnyina. 12Abayigirizwa be ne bajja, ne batwala omulambo ne baguziika; ne bagenda ne babuulira Yezu.
Abantu enkumi ettaano bakkusibwa
13 #
15,32-38; Mar 6,32-44; Luk 9,10-17; Yow 6,1-13. Yezu bwe yawulira ebyo, eyo n'avaayo mu lyato, n'agenda mu kifo eky'esuddeko ebbali yekka. Naye ebibiina bwe byawulira, abantu ne bamugoberera ku bigere nga bava mu bibuga. 14Bwe yagoba ku mwalo, n'alaba ekibiina kinene; ne bamukwasa ekisa, n'awonya abalwadde baabwe. 15Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne bamusemberera ne bagamba nti: “Ekifo kino kyesudde n'obudde buyise; siibula ekibiina abantu bagende mu bibuga beegulireyo emmere gye banaalya.” 16Naye Yezu n'abagamba nti: “Tewali kibatwala; mmwe mubawe kye banaalya.” 17Ne bamuddamu nti: “Tetulinaawo kantu wano okuggyako emigaati etaano gyokka, n'ebyennyanja bibiri.” 18N'abagamba nti: “Mubindeetere wano.”
19Awo n'alagira abantu okubatuuza wansi ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja ebibiri, n'atunula ku ggulu, ne yeebaza, emigaati n'agimenyamu, n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira abantu. 20Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya ebisero kkumi na bibiri ebijjudde obutundutundu obwalema. 21Abaalya bonna baali abasajja enkumi ttaano, obutabala bakazi na baana.
Yezu atambula ku nnyanja
22 #
Mar 6,32-44; Yow 6,15-17. Amangu ago n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala mu lyato, bamukulemberemu, balage emitala w'eri, ye nga bw'asiibula ekibiina. 23Bwe yamala okusiibula ekibiina, n'ayambuka ku lusozi n'abeera eyo yekka nga yeegayirira. Obudde ne buwungeera ng'akyali eyo yekka.
24 #
Mar 6,47-52; Yow 6,16-21. Lyo eryato kati lyali sitadiyo nnyingi okuva ku lukalu, amayengo nga galisunda, kubanga empewo yali ebafuluma mu maaso. 25Mu kisisimuka ekyokuna n'ajja gye bali ng'atambula ku nnyanja. 26Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambula ku nnyanja, ne beesisiwala, ne bagamba nti: “Ogwo muzimu!” ne bawowoggana olw'okutya. 27Amangu ago Yezu n'ayogera gye bali, n'abagamba nti: “Mugume; ye Nze. Temutya.” 28Petero n'ayanukula nti: “Mukama, oba ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli ku mazzi.” 29N'agamba nti: “Jjangu.” Petero n'ava mu lyato, n'atambula ku mazzi, n'agenda eri Yezu. 30Naye bwe yalaba empewo nga nnyingi, n'atya; n'atandika okukka; n'aleekaana ng'agamba nti: “Mukama, mponya.” 31Amangu ago Yezu n'agolola omukono n'amukwata, n'amugamba nti: “Ggwe ow'okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?” 32Bwe baamala okusaabala mu lyato, empewo n'ekoma. 33Abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti: “Mazima, oli Mwana wa Katonda.”
Awonya ab'e Gennesareti
34 #
Mar 6,53-56; Yow 6,22-26. Bwe baawunguka, ne batuuka mu nsi y'e Gennesareti. 35Ab'omu nsi eyo olwamutegeera, ne batuma buli wantu wonna mu nsi eyo, ne bamuleetera abalwadde bonna. 36Ne bamwegayirira waakiri bakome ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaalukomako ne bawonyezebwa.
Yezu ayatuukiriza Abafarisaayo
Currently Selected:
Mat 14: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.