1
Mat 13:23
BIBULIYA ENTUKUVU
BIBU1
Eyasigibwa mu ttaka eddungi, y'oyo awulira ekigambo n'akitegeera; oyo nno abalira ddala ebibala, n'aleeta mu kimu kikumi, ne mu kirala nkaaga, ne mu kirala amakumi asatu.”
Compare
Explore Mat 13:23
2
Mat 13:22
Ate eyasigibwa mu maggwa, y'oyo awulira ekigambo, naye nno okweraliikirira okw'ensi n'okuguya okw'obugagga, bituga ekigambo ne kitabala.
Explore Mat 13:22
3
Mat 13:19
“Buli awulira ekigambo ky'obwakabaka n'atakitegeera, omubi ajja n'akwakkula ekisigiddwa mu mutima gwe; oyo ye nsigo eyagwa ku kkubo.
Explore Mat 13:19
4
Mat 13:20-21
Naye eyasigibwa mu luyinjayinja; y'oyo awulira ekigambo n'akikkiriza mangu n'essanyu, kyokka talina mu ye mirandira, abeerawo akabanga katono; naye bwe wagwawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, yeesittala mangu.
Explore Mat 13:20-21
5
Mat 13:44
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ng'ekyobugagga ekikusike mu nnimiro. Omuntu bw'akizuula, akikweka; ate olw'essanyu, agenda n'atunda byonna by'aba nabyo, n'agula ennimiro eyo.
Explore Mat 13:44
6
Mat 13:8
Endala ne zigwa mu ttaka eddungi, ne zissaako ebirimba: ekimu nga kirimu kikumi, ekirala nkaaga n'ekirala asatu.
Explore Mat 13:8
7
Mat 13:30
Muleke byombi bikulire wamu okutuusa ku makungula. Kale nno ku makungula, ndigamba abakunguzi nti: “Musooke mukuŋŋaanyeemu zizaniya, mugisibe ebinywa, egende eyokebwe; yo eŋŋano mugikuŋŋaanyize mu byagi byange.” ’ ”
Explore Mat 13:30