YouVersion Logo
Search Icon

Mat 12

12
1Awo mu budde obwo, Yezu yayita mu nnimiro z'eŋŋano ku Sabbaato; abayigirizwa be enjala yali ebaluma, ne batandika okunuula ebirimba by'eŋŋano nga balya. 2Abafarisaayo bwe baabalaba, ne bamugamba nti: “Laba, abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa kukola ku Sabbaato.” 3N'abagamba nti: “Temusomanga Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala, ye n'abaali naye, 4nga bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya Emigaati egy'Okwolesebwa egyali gimuzira okulya, ye n'abaali naye, wabula bakabona bokka? 5Oba temusomanga mu tteeka nga ku Sabbaato bakabona mu Kiggwa boonoona Sabbaato ne bataba na musango? 6Ka mbabuulire, wano waliwo n'akira Ekiggwa ekitiibwa. 7#Oz 6,6; Mat 9,13.Naye muba kumanya kino kye kitegeeza, nti: ‘Njagala kisa sso si kitambiro,’ temwandinenyezza bataliiko musango, 8kubanga Omwana w'Omuntu ye mukama wa Sabbaato.”
Omukono omukalu
9 # Mar 3,1-6; Luk 6,6-11. Awo Yezu n'ava awo, n'ayingira mu sinaagooga yaabwe. 10Mwalimu omuntu ow'omukono omukalu. Ne bamubuuza nti: “Kisaanye okuwonya ku Sabbaato?”, balyoke bamuwawaabire. 11#Luk 14,5.Ye n'abagamba nti: “Ani muntu mu mmwe abeera n'endiga n'egwa mu bunnya ku Sabbaato, atagikwata n'agiggyamu? 12Omuntu ng'asingira wala endiga omuwendo! Awo nno kisaanye okukolera obulungi ku Sabbaato.” 13Awo n'agamba omusajja nti: “Golola omukono gwo.” N'agugolola; ne guddirawo ddala, gwonna omulamba ng'omulala.
14Abafarisaayo ne bafuluma, ne bagenda ne bamuteesaako nga bwe banaamuzikiriza. 15#Mar 3,7-12; Luk 6,17-19.Yezu bwe yakimanya, n'avaawo. Bangi ne bamugoberera, n'abawonya bonna. 16N'abakomako obutamwatuukiriza. 17Yisaaya omulanzi kye yalanga kituukirire nti:
18 # Yis 42,1-4. “Wuuno omuweereza wange gwe nalonda,
omwagalwa wange, omwoyo gwange gwe gwesiimiramu.
Ndimussaako Mwoyo wange,
alibuulira amawanga obutuukirivu.
19Talikaayana wadde okuleekaana,
era tewaliba awulira ddoboozi lye mu nguudo;
20olumuli olumenyese talirukutula,
n'enfuuzi enyooka taligizikiza,
okutuusa lw'alituusa obutuukirivu ku buwanguzi;
21n'amawanga mu linnya lye mwe galisuubirira.”
Yezu ne Beelizebuli
22 # Mar 3,22-27; Luk 11,4.14-22. Awo ne bamuleetera omuntu akwatiddwa omwoyo omubi, nga muzibe wa maaso ate nga kasiru, n'amuwonya, kasiru n'asobola okwogera n'okulaba n'alaba. 23Abantu bonna ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono teyandiba Omwana wa Dawudi?” 24#9,34; 10,25.Naye Abafarisaayo bwe baakiwulira, ne bagamba nti: “Ono emyoyo emibi tagigoba ku bwa mulala, okuggyako Beelizebuli, omukulu w'emyoyo emibi.”
25Bwe yamanya bye balowooza, n'abagamba nti: “Buli bwakabaka obwetemamu bwa kuzikirira; tewali kibuga oba ennyumba ebyetemamu bijja kunywera. 26Oba Sitaani agoba Sitaani, awo nno yeetemyemu; obwakabaka bwe bunaanywera butya? 27Oba nze ngoba emyoyo emibi ku bwa Beelizebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Olwekyo kyebaliva babeera abalamuzi bammwe. 28Naye obanga ngoba emyoyo emibi ku lwa Mwoyo wa Katonda, awo nno obwakabaka bwa Katonda bubatuuseeko. 29Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi n'anyaga ebibye, wabula ng'asoose okusiba ow'amaanyi? Olwo anaasobola okunyagulula ennyumba ye. 30#Mar 9,40.Ataba nange, aba mulabe wange; atakuŋŋaanya nange, asaasaanya. 31#Mar 3,28-30; Luk 12,10.Ka mbabuulire, Buli kibi na buli kuvuma Katonda birisonyiyibwa, naye alivuma Mwoyo Mutuukirivu, talisonyiyibwa. 32Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w'Omuntu, kirimusonyiyibwa, naye alyogera ku Mwoyo Mutuukirivu talisonyiyibwa, kibeere mu mirembe gino oba mu mirembe egirijja.
33 # 7,16-20; 15,8; Luk 6,43-45; Yak 3,11-12. “Omuti mugukole nga mulungi, n'ekibala kyagwo kiba kirungi; omuti mugukole nga mubi, n'ekibala kyagwo kiba kibi; kubanga omuti gutegeererwa ku kibala kyagwo. 34Mmwe ezzadde ly'amasalambwa, muyinza mutya okwogera obulungi sso nga muli babi? Anti ku bijjudde mu mutima akamwa kwe kaggya bye koogera. 35Omuntu omulungi, ku birungi by'aterese kw'atoola ebirungi. N'omuntu omubi, ku bibi by'aterese kw'atoola ebibi.
36“Ka mbabuulire, ku lunaku olw'okulamulibwa abantu balibitebya olwa buli kigambo ekyensumattu kye boogera, 37kubanga olyejjeerezebwa okusinziira ku bigambo byo, oba olisalirwa omusango okukusinga okusinziira ku bigambo byo.”
Akabonero ka Yona
38 # 16,1-4; Luk 11,16.29-32; Mar 8,11-12; Yow 2,18; 6,30; 1 Kor 1,22. Awo abamu ku bawandiisi ne ku Bafarisaayo ne bamuddamu nga bagamba nti: “Muyigiriza, twagala okulaba akabonero okuva gy'oli.” 39Ye n'abaddamu nti: “Ezzadde ebbi era esseegu lisaba akabonero; naye tewali kabonero kajja kuliweebwa, wabula akabonero ka Yona omulanzi, 40#Yon 2,1; Mat 27,63.kubanga nga Yona bwe yabeera mu lubuto lw'ekyennyanja ekinene ennaku essatu n'ebiro bisatu, n'Omwana w'Omuntu bw'aliba atyo wansi mu ttaka ennaku essatu n'ebiro ebisatu.
41 # Yon 3,5. “Ab'e Nineve ku kulamulibwa balisituka ne basalira ezzadde lino omusango okulisinga, kubanga bo baabonerera nga Yona ababuulidde; sso nga wano waliwo asinga Yona. 42#1 Bak 10,1-20; 2 Ebyaf 9,1-12.Nnaabakyala ow'emaserengeta ku kulamulibwa alisituka wamu n'abantu b'ezzadde lino, n'abasalira omusango okubasinga, kubanga yava ku nkingi z'ensi okuwulira amagezi ga Solomoni, sso nga wano waliwo akira Solomoni.
Okudda kw'omwoyo omubi
43“Omwoyo omugwagwa bwe guva mu muntu, gutambulatambula mu bifo ebikalukalu, nga gunoonya we gunaawummulira, naye ne gubulwa. 44Awo ne gugamba nti: ‘Nzija kudda mu nnyumba yange mwe nava.’ Bwe gujja, gugisanga nga njereere, eyereddwa, etereezeddwa. 45Awo ne gugenda guleeta emyoyo emirala musanvu egigukira obubi, ne giyingira ne gisula omwo. Awo embeera y'omuntu ey'oluvannyuma n'eba mbi okukira ey'olubereberye. Bwe kityo bwe kiriba ne ku zzadde lino ebbi.”
Baganda ba Yezu ddala
46 # Mar 3,31-35; Luk 8,19-21. Yali akyayogera eri ebibiina, nnyina ne baganda be ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye. 47Awo oli n'amugamba nti: “Nnyoko ne baganda bo bayimiridde wabweru baagala okwogera naawe.” 48Eyali amugambye n'amwanukula nti: “Mmange ate ye ani, ne baganda bange be baani?” 49Awo n'agololera omukono gwe eri abayigirizwa be, n'agamba nti: “Bano ye mmange, be baganda bange, 50kubanga buli alikola Kitange ali mu ggulu ky'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”

Currently Selected:

Mat 12: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in