YouVersion Logo
Search Icon

Mat 11

11
1Awo Yezu bwe yamala okukuutira abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'avaayo, n'agenda okusomesa n'okuyigiriza mu bibuga byabwe.
Yowanna atuma eri Yezu
2Yowanna bwe yali mu kkomera, n'awulira Kristu by'akola; n'ayita mu bayigirizwa be be yatuma 3n'amugamba nti: “Ggwe wuuyo ow'okujja, nandiki tulindirireyo omulala?” 4Yezu n'ayanukula n'abagamba nti: “Muddeeyo mubuulire Yowanna bye muwulira ne bye mulaba: 5#Yis 35,5-6; 61,1; Luk 4,18-19.Bamuzibe baddamu okulaba, abalema batambula, abagenge balongoosebwa, abaggavu b'amatu bawulira, abafu bazuukizibwa n'abaavu babuulirwa amawulire amalungi. 6Yeesiimye oyo atanneesittalako.”
Yezu asiima Yowanna; avumirira abatamukkiriza
7Awo bwe baali bagenda, Yezu n'asooka okugamba abantu ku Yowanna nti: “Mwagenda mu ddungu kulaba ki? Olumuli oluyuuyuzibwa empewo? 8Kale mwagenda kulaba ki? Omuntu ayambadde ebitonnya? Mbadde abayambala ebitonnya baba mu nnyumba za bakabaka. 9Awo nno mwagenda kulaba ki? Mulanzi? Weewaawo! Ka mbabuulire, n'okusinga asinga omulanzi. 10#Mal 3,1.Ye wuuyo eyawandiikibwako nti:
“ ‘Laba, ntuma omubaka wange mu maaso go,
anaakutegekera ekkubo lyo mu maaso go.’
11Mazima, mbagamba nti mu baali bazaaliddwa abakazi temusibukangamu akira Yowanna Batista; kyokka asinga obutene mu bwakabaka obw'omu ggulu amukira. 12#Luk 16,16.Okuva mu biro bya Yowanna Batista okutuusa kati, obwakabaka obw'omu ggulu bukwasiddwa na lyanyi, era ab'eryanyi babutwala na lyanyi.#11,12 Oba: bujja na lyanyi. 13Anti abalanzi bonna n'Amateeka okutuusiza ddala ku Yowanna baalanganga; 14#Mal 3,23; Mat 17,10-13; Mar 9,11-13.oba mwagala okukikkiriza, oyo ye Eliya ow'okujja. 15Alina amatu, awulire.”
16 # Luk 7,31-35. “Naye ezzadde lino nnaaligeranya ku ki? Liri ng'abaana abato abatudde mu mbuga abalaamiriza bali abalala nga bagamba nti:
17“ ‘Twabafuuyira endere,
naye temwazina;
twabakubira ebiwoobe,
naye temwakaaba.’
18Kubanga Yowanna yajja nga talya, nga tanywa, ne bagamba nti: ‘Alimu omwoyo omubi;’ 19Omwana w'Omuntu n'ajja ng'alya era ng'anywa, ne bagamba nti: ‘Mulabe omuntu ono, wa mulugube, mutamiivu, mukwano gwa basolooza b'omusolo n'aboonoonyi!’ Kyokka amagezi ebikolwa byago bye bigejjeereza.”
Ebyalo ebyagaana okwenenya
20 # Luk 10,13-15. Awo n'asooka okukolimira ebibuga omwakolerwa ebikolwa bye ebingi eby'amaanyi kubanga byagaana okwenenya: 21#Yis 23,1-18; Ez 26,1–28,26; Yowel 3,4-5; Amos 1,9-10; Zak 9,2-4.“Zikusanze ggwe Korazini! Zikusanze ggwe Betisayida! Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe singa byali bikoleddwa mu Tiiro ne mu Sidoni, singa baabonerera dda mu bikutiya ne mu vvu. 22Naye mbagamba nti ekirituukirira ensi ya Tiiro ne Sidoni ku lunaku olw'okulamulibwa, kiriba kigumiikirizika okusinga ekiribatuukirira. 23#Amas 19,24-28; Yis 14,13-15.Ate ggwe Kafarunawumu, oligulumizibwa kutuuka ku ggulu? Ojja kussibwa okutuuka wansi mu magombe. Kubanga ebikolwa eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodoma, singa kikyaliwo n'okutuusa ku lunaku lwa leero. 24#10,15; Luk 10,12.Ka mbabuulire, ekirituukirira ensi y'e Sodoma ku lunaku olw'okulamulibwa, kiriba kigumiikirizika okusinga ekirikutuukirira.”
Yezu ajaguliza mu Kitaawe
25 # 10,21-22. Mu kaseera ako, Yezu n'ayanukula n'agamba nti: “Taata, Omukama w'eggulu n'ensi, nkutendereza, kubanga ebyo wabikisa abagezi n'abategeevu, n'obibikkulira abato. 26Weewaawo, Taata, bw'otyo bwe wasiima. 27Byonna Taata yabinkwasa; tewali amanyi Mwana wabula Taata; ne Taata tewali amumanyi, wabula Mwana n'oyo Mwana gw'aba ayagadde okumumanyisaako.
Yezu nnyini kikoligo ekyangu
28“Mujje gye ndi mmwe mwenna abategana n'abazitoowereddwa, nzija kubawa ekiwummulo. 29#Yer 6,16.Mwetikke ekikoligo kyange era munjigireko, kubanga ndi muteefu era mwetoowaze mu mutima, olwo mulyezuulira ekiwummulo, 30kubanga ekikoligo kyange kyangu, n'omugugu gwange muwewufu.”
Yezu ye mukama wa Sabbaato

Currently Selected:

Mat 11: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in