YouVersion Logo
Search Icon

Ebik 28

28
1Bwe twamala okuwona, ne tutegeera ng'ekizinga ekyo kiyitibwa Maluta. 2Bannansi b'okwo ne batugirira ekisa ekitasangika; baakuma omuliro, ne batusembeza ffenna, kubanga enkuba yali etandiikiriza okutonnya n'obudde nga bunnyogoga. 3Pawulo bwe yamala okukuŋŋaanya omuganda gw'obutittiriri, n'agusuula ku muliro; embalasaasa n'efubutukamu olw'ebbugumu, ne yeerippa ku mukono gwe. 4Bannansi bwe baalaba ng'ekintu kirebeetera ku mukono gwe, ne bagambagana nti: “Mazima omusajja ono mutemu; newandibadde ng'awonye ennyanja, mu bwenkanya takkiriziddwa kulama.” 5Naye ye ekintu n'akikunkumulira mu muliro, n'atabaako kabi konna. 6Ne bamulindirira okuzimbagatana oba okugwa eri afe amangu ago. Naye bwe baalwawo nga balindirira, ne balaba nga tewali kabi kamujjidde, ne beefukulula, ne bagamba nti yali lubaale.
7Kati nno mu kitundu ekyo okuliraana n'ekifo ekyo mwalimu ebyalo by'omusajja omwami w'ekizinga, erinnya lye Pubuliyo, eyatukyaza ewuwe okumala ennaku ssatu, n'atulabirira n'ekisa. 8Kati nno kitaawe wa Pubuliyo yali ku ndiri ng'akwatiddwa omusujja n'ekiddukano. Pawulo n'ayingira gy'ali, ne yeegayirira, n'amussaako emikono, n'amuwonya. 9Ekyo bwe kyamala okukolebwa, ab'omu kizinga bonna abaalina endwadde nabo ne bajja ne bawonyezebwa. 10Era ne batugulumiza n'ekitiibwa kinene. Ate bwe twali tusaabala, ne batikkako byonna bye twali twetaaga.
Pawulo atuuka e Roma
11Oluvannyuma lw'emyezi esatu, ne tusaabalira mu lyato eryali limaze obudde obw'obutiti mu kizinga ekyo; eryato lyali ly'e Alekisanduriya, nga liriko akabonero k'Abalenzi Abalongo.#28,11 Oba: ekifaananyi kya Diyosikuri. 12Bwe twatuuka e Sirakuzi, ne tumalawo ennaku ssatu. 13Bwe twavaayo, ne tugenda nga tubalama, ne tugoba e Regiyo. Oluvannyuma lw'olunaku olusooka empewo y'emaserengeta n'efuuwa, ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putewolo. 14Eyo twasangayo abooluganda, ne batusaba okusigala nabo ennaku musanvu. Ne tutuuka bwe tutyo e Roma. 15Abooluganda abali eyo bwe baatuwulira, ne bajja okutuukira ddala ku Mbuga ya Appiyo ne ku Migiini Esatu. Pawulo bwe yabalabako, ne yeebaza Katonda, n'addamu omwoyo. 16Bwe twatuuka e Roma, Pawulo ye n'akkirizibwa okusula yekka, ng'aliko omuserikale amukuuma.
Pawulo asisinkana Abayudaaya b'e Roma
17Ennaku essatu bwe zaayitawo, n'ayita abakulu b'Abayudaaya, ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Basajja abooluganda, nze newandibadde nga siriiko kibi kye nakolera bantu, era nga soonoonanga ku mpisa za bajjajjaffe, naye era nasibirwa e Yeruzaalemu ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaroma. 18Bwe baamala okumbuuza, ne baagala okunta, kubanga nali siriiko musango gunzisa. 19#25,11.Naye Abayudaaya ne bakikaayanako; ekyo kye kyansindika okujulira eri Kayisari, newandibadde nga saalina kintu kye nvunaana ggwanga lyange. 20Olw'ekyo nno, kyenvudde njagala okubalaba n'okwogerako nammwe, kubanga lwa kubeera ssuubi lya Yisirayeli kyenvudde nsibibwa olujegere luno.” 21Bo ne bamugamba nti: “Ffe tetufunanga bbaluwa eva mu Buyudaaya ekwogerako, yadde omu ku booluganda abajja kuno akwogeddeko bubi. 22Kale nno twandyagadde okuwulira ggwe ky'olowooza. Anti kye tumanyi ku kibiina kino kye kino, nti kyogerwako bubi.”
23Bwe baamala okumulagaanya olunaku, ne bajja bangi gy'ali mu nnyumba gye yali asulamu. N'abannyonnyola ebintu ng'abategeeza obwakabaka bwa Katonda okuva ku makya okutuusa akawungeezi, ng'afuba okubakkirizisa Yezu ng'ayima ku Tteeka lya Musa n'Abalanzi. 24Abamu ne bakkiriza olw'ebyo bye yayogeranga, abalala ne batakkiriza. 25Ne wabaawo obutakkaanya; ne baabuka; naye Pawulo ng'ayogedde kino nti: “Wamma Mwoyo Mutuukirivu yali mutuufu, bwe yagamba bajjajjammwe, ng'ayita mu mulanzi Yisaaya nti:
26 # Yis 6,9-10. “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti:
okuwulira muliwulira, naye temulitegeera;
okulaba muliraba, naye temulyetegereza.
27Kubanga omutima gw'abantu bano gugubye,
n'amatu gaabwe gazitoowererwa okuwulira,
n'amaaso gaabwe bagazibirizza,
sikulwa nga balaba n'amaaso gaabwe,
ne bawulira n'amatu gaabwe,
ne bategeera n'omutima gwabwe,
ne beenenya, ne mbawonya.’
28 # Zab 67,3. Mutegeere nno ng'okulokoka kuno Katonda akusindise eri ab'amawanga; bajja kuwulira.”#28,28 Ez'edda zongerako: 29 Bwe yamala okwogera ebyo Abayudaaya ne bavaawo, ne bawakana nnyo bokka na bokka.
Okufundikira
30Pawulo n'amala emyaka ebiri miramba mu nnyumba ye gye yeepangisiriza, n'ayaniriza bonna abajjanga gy'ali, 31ng'alangirira obwakabaka bwa Katonda n'okuyigiriza ebifa ku Mukama Yezu Kristu kyere awatali amuziyiza.

Currently Selected:

Ebik 28: BIBU1

Highlight

Share

Compare

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in