Ebik 27
27
1Bwe kyamala okusalibwawo nti twali ba kuwunguka tugende mu Yitale, Pawulo n'abasibe abalala ne babakwasa senturiyo, erinnya lye Yuliyo, ow'ekibinja ekiyitibwa ekya Kabaka. 2Ne tusaabala eryato lya Aduramuttiyo eryali ligenda okuwunguka nga liyitira ku myalo egiri ku lubalama lwa Aziya, ne tusimbula nga tuli ne Aristariko Omumasedoni ow'e Tessalonika. 3Ku lunaku olwaddako ne tugoba e Sidoni. Yuliyo n'ayisa bulungi Pawulo, n'amukkiriza okugenda mu mikwano gye bamulabirire. 4Ne tusitula okuva awo, ne tuvuga nga tuyita kumpi ne Kupuro; kubanga empewo zaali zituva mu maaso. 5Bwe twamala okusala ennyanja y'e Silisiya ne Pamfiliya, ne tugoba e Mira eky'omu Lukiya. 6Senturiyo n'asangawo eryato ly'e Alekisanduriya nga liraga mu Yitale, n'atusaabaza omwo. 7Ne tumala ennaku nnyingi nga tugenda tuseeyeeya mpolampola, ne tugoba na kuwaliriza mu bulumba bwa Kunido, anti empewo nga tetuganya; ne tuvuga nga tuyita kumpi ne Kureti ku luuyi olwa Salumone. 8Ne tugenda nga tukikiitana nga tugoba olubalama okutuusa lwe twagoba mu kifo ekiyitibwa Omwalo Omulungi, okumpi nakyo awali ekibuga Lasaya.
9Ebbanga olwo nga liyiseewo ddene, nga n'okuwunguka kumaze okuba okw'akabi, n'okusiiba nakwo nga kumaze okuyita, Pawulo n'abalabula nti: 10“Basajja, ndaba ng'olugendo lujja kubeera lwa kabi n'okufiirwa kunene, si kwa bintu na lyato kyokka, naye n'obulamu bwaffe bwennyini.” 11Naye senturiyo yasinga kuwuliriza mugoba ne nnannyini lyato okusinga Pawulo bye yali agamba. 12Kubanga omwalo gwali tegumalikamu budde bwa butiti, abasinga obungi ne bateesa basitule okuva awo, omukisa nga gubakutte bagobe e Fenikisi, omwalo gwa Kureti ogutunuulidde ebugwanjuba mu mambuka n'ebugwanjuba mu maserengeta, bamalire awo obudde obw'obutiti.
Omuyaga gusituka, eryato ne litokomoka
13Empewo ez'emaserengeta bwe zaafuuwa empolampola, ne balowooza nti ky'ekyo kye babadde beetaaga; ne basitula ennanga, ne bavuga nga bakiiba Kureti nga bagoba olubalama. 14Waayitawo ebbanga ttono, empewo ey'omuggundu eyitibwa Ewurakulo n'ebajjira ng'efuluma ku kizinga. 15Eryato ne likwatibwa nga terisobola kugumira muyaga; kwe kulireka, ne tumala gakuŋŋunsibwa tutyo. 16Ne tusindikibwa emmanga ku kizinga kye bayita Kulawuda, ne tuwaliriza nnyo okubakiriza akaato. 17Bwe baamala okukalinnyisa, ne beetoolooza eryato emiguwa. Olw'okutya nti bayinza okutomera enjazi ku Siruti, ne bassa ebivuga eryato, ne bamala gakuŋŋunsibwa batyo. 18Omuyaga nga gutusinzizza amaanyi, ku lunaku olwaddako, ne basooka okusuulako ebintu ebimu mu nnyanja; 19ku lunaku olwokusatu n'ebivuga eryato byennyini ne babikasuka n'emikono gyabwe. 20Ne wayita ennaku nnyingiko, ng'enjuba n'emmunyeenye tebirabikako, ng'omuyaga mungi gukunta, essuubi ery'okuwona ne liviibwako.
21Nga bamaze ebbanga ddene nga tewali mmere, Pawulo n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Basajja, singa mwampuliriza ne mutava Kureti, tewandibaddewo kwonooneka na kufiirizibwa kuno. 22Kale nno mbasaba mugume omwoyo; kubanga mpaawo bulamu bunaatokomoka, wabula lyato lyokka. 23Kubanga malayika wa Katonda antwala era gwe mpeereza, yayimiridde we ndi ekiro kino, 24n'agamba nti: ‘Pawulo, leka kutya, olina okuyimirira mu maaso ga Kayisari; laba, Katonda akuwadde abo bonna abasaabadde naawe.’ 25Kale nno basajja, mugume omwoyo kubanga neesiga Katonda nga kinaaba bwe kityo nga bwe yakigambye. 26Mazima tujja kusuulibwa ku kizinga ekimu.”
27Mu kiro eky'ekkumi n'ebina, bwe twali tukuŋŋunsibwa ku nnyanja Aduriya, mu ttumbi, abagoba ne bakenga nga twali tusemberera olukalu. 28Bwe baapima obuwanvu bw'amazzi, ne basangawo ebifuba ng'amakumi abiri. Ate bwe beeyongerayo mu maaso, ne bapima, ne basangawo kkumi na bitaano. 29Olw'okutya nti twali tuyinza okutomera enjazi, ne basuula ennanga nnya ku luuyi lw'ekiwenda, ne basabirira obudde bukye. 30Abagoba abamu baayagala okudduka mu lyato, ne bassa akaato ku nnyanja nga beekwasa nti bagenda kusuula nnanga ku luuyi lw'ensanda. 31Pawulo n'agamba senturiyo n'abaserikale nti: “Abagoba bano bwe batasigala mu lyato temulina buwonero.” 32Awo abaserikale ne basala emiguwa gy'akaato, ne bakaleka ne kagenda.
33Obudde nga bukya, Pawulo n'abeegayirira bonna balye ku mmere, ng'agamba nti: “Luno olunaku lwa kkumi na nnya ng'emitima gibeewanise, awatali mmere, nga temulina ke mulidde; 34kale nno mbeegayiridde, mulye ku mmere; ejja kubazzaamu amaanyi, kasita tewajja kubeera luviiri na lumu luva ku mutwe gwa muntu n'omu ku mmwe.” 35Bwe yasirissa ebyo, n'akwata omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso ga bonna, n'agumenyamu, n'atandika okulya. 36Olwo bonna ne baddamu omwoyo, nabo bennyini ne balya ku mmere. 37Ffenna mu lyato twalimu abantu ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 38Bwe baamala okukkuta emmere, ne bateewuluzaako ku lyato nga basuula eŋŋano mu nnyanja.
39Obudde bwe bwakya, olukalu olwo ne batalutegeera; kyokka ne balengera ekyondo nga kiriko olubalama, ne bateesa okugobyako eryato bwe baba nga basobola. 40Awo ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, era ne basumululirawo n'emiguwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga ery'omu maaso eri empewo, ne boolekera olubalama. 41Bwe baayingirira ekyereero, eryato ne balitomeza, ensanda n'eyingira muli, n'esikkattira nga tekyenyeenya, ekiwenda ne kimenyekamu olw'amaanyi g'amayengo. 42Abaserikale ne bateesa okutta abasibe, sikulwa nga wabaawo awuga n'abomba. 43Naye senturiyo olw'okwagala okuwonya Pawulo, n'abagaana okutuukiriza ekirowoozo kyabwe. N'alagira abasobola okuwuga be baba basooka okwesuula mu nnyanja bagobe ettale, 44abasigaddewo, abamu bagendere ku mbaawo, abalala ku bitundutundu by'eryato. Bonna bwe batyo ne batuuka ku lukalu nga bawonye.
Pawulo e Maluta
Currently Selected:
Ebik 27: BIBU1
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.