“ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti:
okuwulira muliwulira, naye temulitegeera;
okulaba muliraba, naye temulyetegereza.
Kubanga omutima gw'abantu bano gugubye,
n'amatu gaabwe gazitoowererwa okuwulira,
n'amaaso gaabwe bagazibirizza,
sikulwa nga balaba n'amaaso gaabwe,
ne bawulira n'amatu gaabwe,
ne bategeera n'omutima gwabwe,
ne beenenya, ne mbawonya.’