Rom OKWANJULA EBBALUWA
OKWANJULA EBBALUWA
Ebyafaayo by'Ebbaluwa: Ebbaluwa eno Pawulo Omutume gye yawandiikira ab'e Roma ye emu ku bbaluwa ze yasooka okuwandiika. Kiteeberezebwa nti yagiwandiika ng'ali mu kibuga Korinti (Ebik 20,3). Tewali bukakafu bumala kulaga ddi lwe yawandiikibwa, naye nga kirowoozebwa okuba nti yawandiikibwa mu myaka AD 57-58 ng'Evangili tezinnawandiikibwa. Ekleziya mu Roma erowoozebwa okuba nga yatandikibwawo mu AD 40 Abayudaaya Abakristu abaali bava mu Buyudaaya, oba abaali balamaga okudda mu Yeruzaalemu ne bakyusibwa. Pawulo Omutume yali tayigirizanga wadde okukyalako mu Roma (1,1); yatuukayo nga musibe (Ebik 28,14) n'attirwa eyo nga mu AD 67. Ensonga eyamuwandiisa ebbaluwa eno nayo si nnyangu kumanya. Ng'emu ku nsonga eziweebwa, kirowoozebwa nti yayagala okugumya banne Abayudaaya babe bakakafu nti Kristu gwe basenze ye yekka omuli obulokofu; eby'ekiyudaaya, ng'Etteeka lya Musa, bireme kubassa mabbabbanyi, anti waaliwo abaali batankana mu Kristu, abamu nga bawubisibwa enjigiriza y'abaali bagamba nti okuba Omuyudaaya ate n'Etteeka lya Musa mwe muli okulokoka.
Entereeza y'ebbaluwa: Olulimi n'omulamwa gw'ebbaluwa eno bikalubo, kubanga Pawulo ky'ayogerako kizibu okunnyonnyola mu lulimi olwangu; oluusi yeebuuza ebibuuzo nga bwe yeddamu (laba 6,1; 7,2). Ekinyusi ky'ebbaluwa (1,16–15,13) kiyinza okugabanyizibwamu ebitundu ebikulu bina: I. Okwanjula Evangili gye yatumibwa okuyigiriza n'ensonga ezeetaagisa buli muntu okulokolebwa (1,16–3,20); II. Okunnyonnyola obutuukirivu ng'omuntu bw'abufuna mu Kristu olw'okukkiriza, kwe kugamba, nti omuntu atuuka atya ku kulokoka ng'ayita mu kukkiriza? (3,21–8,39); III. Pawulo atunuulira obutakkiriza bw'Abayudaaya mu ntegeka za Katonda (9-11), ne IV. Pawulo akubiriza Abakristu okwagalana n'okuba abawulize eri ababatwala, era atumira abantu ab'enjawulo (12-16).
Enjigiriza y'ebbaluwa: Pawulo akakasa Abakristu mu Roma nti ye muyigiriza wa Yezu Kristu eyalondebwa okuyigiriza amawulire amalungi (Evangili). Pawulo n'abagamba nti Evangili gy'ayigiriza y'eno: nti okulokoka kuli mu kukkiriza Kristu (1,16-17). Ab'amawanga n'Abayudaaya bonna omulokozi ali omu, ye Yezu Kristu, si Musa oba Etteeka, era bonna bamwetaaga kubanga bonna baayonoona (1-4). Kristu ono obulokofu bwaffe yabutufunira mu kufa n'okuzuukira kwe (5); bufuuka bwaffe mu Batismu (6); okulokoka kutegeeza nti Yezu yatuwonya okufa n'olumbe, yatuwonya etteeka ekkadde, yatuwonya ekibi (7) ate n'atuwa obulamu obwa Mwoyo Mutuukirivu gwe yatuwa (8). Mu kitundu ekyokubiri (9-11) Pawulo yennyamira olw'Abayudaaya obutakkiriza Yezu, naye n'agamba nti yali ntegeka ya Katonda obutakkiriza bwabwe buleetere ab'amawanga okukkiriza, era olumu nabo balikkiriza. Amaliriza ebbaluwa ng'awa ebibuuliriro ebitali bimu, naddala Abakristu okwagalana, okulumirwagana (12; 14-15) n'okuba abawulize eri abakulembera amawanga, n'abajjukiza nti: obukulu buva wa Katonda ate butume (13,1 zid).
Omugaso gw'ebbaluwa mu nsangi zino: Ebbaluwa eno ye emu ku biwandiiko by'Endagaano Empya ebisinga omugaso, okwesigamiziddwa enjigiriza y'Ekleziya ku Batismu, Eneema, Okulokoka, Mwoyo Mutuukirivu, Ekibi, n'Okukkiriza, ne Yezu Kristu ng'Omulokozi. Enjigiriza yaayo ku nkolagana wakati w'Ekleziya n'abafuzi b'ensi nayo egasa nnyo, naddala mu biro bino enkolagana eno abangi we bagitankaniramu.
|
AB'E ROMA
Currently Selected:
Rom OKWANJULA EBBALUWA: BIBU1
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.