YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 94

94
1 # Ma 32:35, Is 35:4, Bar 12:19 Ai Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana,
Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala.
2 # Zab 7:6; 58:11 Weeyimuse, ggwe asalira ensi emisango:
Owe ab'amalala ebibagwanira.
3 # Yob 20:5, Kub 6:10 Mukama, ababi balituusa wa,
Ababi balituusa wa okuwangula?
4 # 1 Sam 2:3 Boogera ebitaliimu, n'eby'amalala:
Abakozi b'obubi bonna beenyumiriza:
5 # Is 3:15 Bamenyaamenya abantu bo, ai Mukama,
Era babonyaabonya obusika bwo.
6 # Is 10:2 Batta nnamwandu ne munnaggwanga,
Era batta atalina kitaawe.
7 # Yob 22:13 Ne boogera nti Mukama taalabe,
So Katonda wa yakobo taalowooze.
8Mulowooze, mmwe abali ng'ensolo mu bantu:
Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi?
9 # Kuv 4:11, Nge 20:12 Eyateekawo okutu, taliwulira?
Eyabumba eriiso, taliraba?
10Abonereza amawanga, talikangavvula,
Ayigiriza abantu amagezi?
11 # 1 Kol 3:20 Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu,
Nga mukka.
12 # Yob 5:17, Nge 3:11,12 Alina omukisa omuntu gw'obonereza, ai Mukama,
Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go;
13 # Yob 34:29 Olyoke omuwummuze aleme
okulaba ebiro eby'ennaku,
Okutuusa obunnya lwe bulisimirwa ababi.
14 # Ma 32:9, 1 Sam 12:22, 1 Bassek 6:13, Bar 11:2 Kubanga Mukama talisuula bantu be,
So talireka busika bwe.
15 # 1 Bassek 14:8 Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu:
Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.
16Ani anangolokokera ku abo abakola obubi?
Ani anannyimiririra ku bakozi b'ebitali bya butuukirivu?
17 # Zab 124:1,2 Singa Mukama teyali mubeezi wange,
Emmeeme yange yanditudde mangu awali okusirika.
18Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera,
Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira.
19Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze
Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.
20 # Is 10:1, 2 Kol 6:14 Abafuga ababi balissa ekimu naawe,
Abalagira eby'ettima mu mateeka?
21 # Nge 17:15, Mat 27:4 Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu,
Ne basala omusango okusinga omusaayi ogutaliiko kabi.
22 # Zab 9:9; 14:6; 18:2 Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu;
Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna.
23 # Zab 7:16 Era abaleeseeko obutali butuukirivu bwabwe bo,
Era alibazikiriza mu bubi bwabwe;
Mukama Katonda waffe alibazikiriza.

Currently Selected:

Zabbuli 94: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 94