Zabbuli 95
95
1 #
Zab 66:1; 89:26 Mujje, tuyimbire Mukama:
Tuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe.
2Tujje mu maaso ge n'okwebaza,
Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli.
3 #
2 Byom 2:5, Zab 135:5 Kubanga Mukama ye Katonda omukulu,
Era Kabaka omukulu asinga
bakatonda bonna.
4Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe;
N'entikko z'ensozi nazo zizze.
5 #
Lub 1:9,10, Yon 1:9 Ennyanja yiye, era yagikola;
N'emikono gye gye gyabumba olukalu.
6 #
Ma 32:6, 2 Byom 6:13, Yob 35:10, Is 51:13, Dan 6:10, Luk 22:41 Mujje, tusinze, tuvuuname;
Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:
7 #
Zab 48:14; 74:1 #
Beb 3:7-11
Kubanga ye Katonda waffe,
Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe.
Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
8 #
Kuv 9:34; 17:2-7, Kubal 20:2-13, 1 Sam 6:6 Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba,
Nga ku lunaku olw'e Masa mu ddungu:
9 #
Zab 78:18, 1 Kol 10:9 Bajjajja bammwe bwe bankema,
Ne bangeza, ne balaba omulimu gwange.
10 #
Kubal 14:33,34, Bik 13:18, Beb 3:17 Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab'emirembe giri,
Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
So tebamanya makubo gange:
11 #
Ma 1:34,35; 12:9, Beb 3:18; 4:3,5 Kyennava ndayira mu busungu bwange,
Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.
Currently Selected:
Zabbuli 95: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.