YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 93

93
1 # 1 Byom 16:31, Zab 65:6; 96:10; 104:1, Is 51:9, Kub 19:6 Mukama afuga; ayambadde obukulu:
Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi:
Era ensi enywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.
2 # Zab 45:6; 90:2 Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna:
Obeererawo okuva emirembe n'emirembe.
3 # Zab 98:7,8, Kaab 3:10 Amazzi gayimusizza, Ai Mukama,
Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago;
Amazzi gayimusa amayengo gaago.
4 # Zab 65:6,7; 92:8 Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi,
Amayengo amanene ag'oku nnyanja,
Mukama ali waggulu asinza amaanyi.
5 # Zab 19:7; 29:2 Bye wategeeza bya mazima ddala:
Obutukuvu busaanira ennyumba yo,
Ai Mukama, emirembe n'emirembe.

Currently Selected:

Zabbuli 93: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 93