YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 91

91
1 # Zab 32:7; 121:5, Is 25:4; 32:2 Atuula mu kifo eky'ekyama eky'oyo ali waggluu ennyo
Ye anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna.
2 # Zab 11:1; 14:6; 18:2 Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange:
Katonda wange gwe nneesiga.
3 # Zab 124:7 Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'omuyizzi,
Ne mu kawumpuli omubi.
4 # Zab 35:2; 57:1; 61:4 Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye,
Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga:
Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma.
5 # Yob 5:19-23, Nge 3:25, Is 43:1,2 Tootyenga lwa ntiisa ya kiro
Newakubadde akasaale akagenda emisana;
6Olw'olumbe olutambulira mu kizikiza,
Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.
7Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo,
Era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo;
Tekulikusemberera ggwe.
8Naye olitunula n'amaaso go,
Oliraba empeera y'ababi.
9 # Zab 71:3; 91:2 Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange!
Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula;
10 # Nge 12:21 Tewali kabi akalikubaako,
So tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.
11 # Kuv 23:20, Zab 34:7, Nge 3:23, Mat 4:6, Beb 1:14 Kubanga alikulagiririza bamalayika be,
Bakukuume mu makubo go gonna.
12Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
13 # Luk 10:19, Bik 28:5 Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa;
Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo.
14 # Zab 9:10 Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya:
Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 # 1 Sam 2:30, Yob 12:4, Zab 50:15, Yer 33:3, Zek 13:9, Yok 12:26 Alinkaabira, nange ndimuyita;
Naabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga:
Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa.
16 # 1 Bassek 3:14, Zab 21:4; 50:23 Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu,
Era ndimulaga obulokozi bwange.

Currently Selected:

Zabbuli 91: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in