Zabbuli 90
90
EKITABO 4
Okusaba kwa Musa omusajja wa Katonda.
1 #
Zab 71:3, Lub 3:19 Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky'okutuulamu
Mu mirembe gyonna.
2 #
Yob 36:26, Nge 8:25 Ensozi nga tezinnazaalibwa,
Era nga tonnabumba nsi n'ebintu,
Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 #
Lub 3:19, Mub 12:7 Osindika abantu mu kuzikirira;
Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b'abantu.
4 #
2 Peet 3:8
Kubanga emyaka olukumi mu maaso go
Giri ng'olwajjo olwayita,
Era ng'ekisisimuka ky'ekiro.
5 #
Yob 20:8
Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng'otulo:
Enkya bali ng'omuddo ogumera.
6 #
Yob 4:20; 14:2, Yak 1:11 Enkya guloka, gumera;
Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.
7Kubanga obusungu bwo butumalawo,
Era bw'onyiiga ne tweraliikirira.
8 #
Zab 19:12, Yer 16:17, Beb 4:13 Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go,
Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go.
9Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo;
Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo.
10Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu,
Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana;
Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere;
Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
11Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo,
N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa?
12 #
Zab 39:4
Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe,
Tulyoke tufune omutima omugezigezi.
13 #
Ma 32:36, Zab 74:9,10; 135:14 Okomewo, ai Mukama; olituusa wa?
Era wejjuse mu bigambo eby'abaddu bo.
14 #
Zab 85:6
Otukkuse enkya n'okusaasira kwo;
Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.
15Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu,
Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
16 #
Zab 92:4, Kaab 3:2 Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo,
N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.
17 #
Is 26:1
Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe:
Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe:
Weewaawo, emirimu gy'emikono gyaffe oginywezenga.
Currently Selected:
Zabbuli 90: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.