YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 92

92
Zabbuli, oluyimba olw'okussabbiiti.
1 # Lub 14:19,20, Zab 147:1 Kirungi okwebazanga Mukama,
N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:
2 # Zab 36:5; 119:147,148 Okwolesanga ekisa kyo enkya,
N'obwesigwa bwo buli kiro.
3 # Zab 33:2 N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi, era n'amadinda:
N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga.
4 # Zab 8:6 Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo:
Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.
5 # Zab 111:2; 139:17, Bar 11:33, Kub 15:3 Emirimu gyo nga mikulu, ai Mukama!
Ebirowoozo byo bya buziba nnyo.
6 # Zab 94:8 Omuntu ali ng'ensolo tamanyi kino,
So nga n'omusirusiru takitegeera:
7 # Yob 21:7, Zab 94:4, Yer 12:1 Ababi bwe baloka ng'omuddo,
Era abakozi b'obubi bonna bwe babeera;
Kyebava beera bazikirizibwe emirembe gyonna:
8 # Zab 93:4 Naye ggwe, ai Mukama, ogulumizibwanga emirembe n'emirembe.
9 # Zab 68:1 Kubanga, laba, abalabe bo, ai Mukama,
Kubanga, laba, abalabe bo, balizikirira;
Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa.
10 # 1 Sam 2:1, Zab 23:5; 75:10 Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo:
Nfukiddwako amafuta amaggya.
11 # Zab 54:7 Era eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange,
Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako.
12 # Zab 52:8; 72:7, Kos 14:5,6 Omutuukirivu alyera ng'olukindu;
Alikula ng'omuvule mu Lebanooni.
13 # Zab 135:2 Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama
Balyerera mu mpya za Katonda waffe.
14Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye;
Balijjula amazzi, baligejja:
15 # Ma 32:4, Zab 58:11, Bar 9:14 Balage nga Mukama mutuukirivu;
Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu.

Currently Selected:

Zabbuli 92: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 92