YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 71

71
1 # Zab 31:1-3 Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga:
Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.
2Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye:
Ontegere okutu, ondokole.
3 # Ma 33:27, Zab 90:1; 91:9 Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo:
Walagira okundokola;
Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
4 # Zab 140:1,4 Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw'omubi,
Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
5 # Yer 17:7, Bar 15:13, 1 Tim 1:1 Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda:
Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
6 # Zab 22:9,10, Is 46:3 Ggwe wampanirira okuva mu lubuto:
Ggwe wanziya mu byenda bya mmange:
Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
7 # Is 8:18, 1 Kol 4:9 Nninga ekitalo eri abantu abangi;
Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi.
8 # Zab 35:28 Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo,
N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9Tonsuula mu biro eby'obukadde;
Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
10 # 2 Sam 17:1,2, Zab 56:6 Kubanga abalabe bange banjogerako;
N'abo abateega emmeeme yange bateesa wamu,
11Nga boogera nti Katonda amulese:
Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.
12 # Zab 10:1; 40:13 Ai Katonda, tombeera wala:
Ai Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13 # Zab 35:4 Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange;
Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.
14Naye naasuubiranga ennaku zonna,
Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
15 # Zab 40:5 Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo,
N'obulokozi bwo okuzibya obudde;
Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi.
16Najjanga n'ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda:
Naayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange;
Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
18 # Is 46:4 Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye
era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga;
Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo,
N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
19 # 1 Sam 12:24, Zab 35:10; 36:6; 126:2, Luk 1:49 Era n'obutuukirivu bwo, ai Katonda, bugulumivu nnyo:
Ggwe eyakola ebikulu,
Ai Katonda, afaanana nga ggwe ani?
20 # Zab 60:3; 85:6, Kos 6:2 Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu,
Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.
21Oyongerenga ggwe obukulu bwange,
Okyukenga nate onsanyuse.
22 # 2 Bassek 19:22, Zab 33:2; 78:41, Is 60:9 Era naakutenderezanga n'endere,
Amazima go ge nnaatenderezanga, ai Katonda wange:
Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga,
Ai ggwe Omutukuvu wa Isiraeri.
23 # Zab 25:22 Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza;
N'emmeeme yange gye wanunula.
24 # Zab 71:8 Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde:
Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.

Currently Selected:

Zabbuli 71: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in