YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 70

70
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi; ey'okujjukiza.
1 # Zab 38:22 # Zab 40:13-17 Oyanguwe, ai Katonda, okundokola;
Oyanguwe okunnyamba, ai Mukama.
2 # Zab 35:4 Bakwatibwe ensonyi baswale
Abanoonya emmeeme yange:
Bazzibwe ennyuma bajeezebwe
Abasanyukira okufiirwa kwange.
3Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe
Aboogera nti Nyenya, nyenya.
4 # Zab 35:27 Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga;
N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti
Katonda agulumizibwenga.
5 # Zab 86:1; 141:1 Naye nze ndi mwavu, sirina kintu;
Oyanguwe okujja gye ndi, ai Katonda:
Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange;
Ai Mukama, tolwawo.

Currently Selected:

Zabbuli 70: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in