YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 72

72
Zabbuli ya Sulemaani.
1 # 1 Byom 22:12 Owenga kabaka emisango gyo, ai Katonda
Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka.
2 # Is 11:4; 32:1 Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutuukirivu,
N'abaavu bo egy'ensonga.
3 # Is 32:17 Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe,
N'obusozi, mu butuukirivu.
4Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu,
Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu,
Era anaamenyaamenyanga omujoozi.
5 # Zab 89:36,37, Yer 31:35,36 Banaakutyanga ng'enjuba ekyaliwo,
Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna.
6 # Ma 32:2, 2 Sam 23:4, Am 7:1 Alikka ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa:
Ng'empandaggirize ezifukirira ensi.
7 # Zab 92:12, Is 2:4, Bef 2:14 Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa,
Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo.
8 # Kuv 23:31, Zab 2:8, Zek 9:10 Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,
Era okuva ku mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
9 # Zab 22:29, Is 49:23 Abatuula mu ddungu balimufukaamirira;
N'abalabe be balikomba enfuufu.
10 # 1 Bassek 10:1,22, Zab 68:29, Is 43:3; 60:9 Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku Bizinga banaaleetanga ebirabo:
Bakabaka b'e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone.
11 # Is 49:7 Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge:
Amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga:
N'omwavu atalina mubeezi.
13Anaasaasiranga omwavu n'omunafu,
N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.
14 # 2 Bassek 1:13, Zab 115:15 Anaanunulanga emmeeme zaabwe
mu kujoogebwa n'ettima:
N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge:
15 # 1 Bassek 10:10 Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e Syeba:
Era abantu banaamusabiranga bulijjo;
Banaamwebazanga okuzibya obudde.
16 # Yob 5:25 Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi;
Ebibala byayo binaayuuganga nga Lebanooni:
N'ab'ekibuga banaameranga ng'omuddo ogw'oku nsi.
17 # Lub 12:3, 2 Sam 23:4, Am 7:1 Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna;
Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba:
N'abantu banaalabanga omukisa mu ye;
Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa.
18 # Zab 41:13; 86:10 Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri,
Akola eby'amagero yekka:
19 # Kubal 14:21, Nek 9:5 N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna;
Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye.
Amiina, era Amiina.
20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde.

Currently Selected:

Zabbuli 72: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in