YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 69

69
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekisosannimu. Zabbuli ya Dawudi.
1 # Zab 32 Ndikola, ai Katonda;
Kubanga amazzi gayingidde ne gatuuka ku mmeeme yange.
2 # Zab 40:2; 124:4 Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira:
Ntuuse mu buziba amazzi amangi we gampitirako.
3 # Zab 6:6; 119:123, Is 38:14 Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze:
Amaaso gange ganzibye nga
nnindirira Katonda wange.
4 # Zab 38:19; 40:12, Yok 15:25 Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'okumutwe gwange obungi:
Abaagala okunzikiriza, kubanga be balabe bange awatali nsonga, ba maanyi:
Ne ndyoka nziza kye saabaggyaako.
5Ai Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange:
N'okwonoona kwange tekukisibwa ggwe.
6Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, ai Mukama Katonda ow'eggye:
Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, ai Katonda wa Isiraeri.
7 # Yer 15:15 Kubanga banvuma okunnanga ggwe;
Ensonyi zibisse amaaso gange.
8 # Yob 19:13, Is 53:3, Yok 1:11 Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange,
Era atali mumanyi eri abaana ba mmange.
9 # Zab 89:41,50; 119:139, Yok 2:17, Bar 15:3 Kubanga obuggya obw'ennyumba yo bundidde;
N'ebivume by'abo abakuvuma ggwe binguddeko.
10 # Yob 17:6, Zab 35:13 Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n'esiiba enjala,
Ekyo kye kyanvumya.
11Bwe nnayambala ebibukutu,
Ne mbafuukira eŋŋombo.
12 # Luus 4:1, Yob 30:9, Kung 3:14 Abatuula mu mulyango banjogerako,
Era ndi luyimba lwa batamiivu.
13 # Is 49:8 Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, ai Mukama, mu kiseera eky'okukkiririzaamu:
Ai Katonda, mu kusaasira kwo okungi,
Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo.
14 # Zab 69:1,2; 144:7 Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira:
Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag'eddubi.
15Amazzi amangi galeme okumpangula,
Newakubadde obunnya buleme okunzibira akamwa kaabwo.
16 # Zab 63:3; 106:45 Onziremu, ai Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi:
Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire.
17 # Zab 27:9; 102:2 So tokisa amaaso go omuddu wo;
Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu.
18Osemberere emmeeme yange, oginunule:
Ompe eddembe olw'abalabe bange.
19 # Is 22:6, Beb 12:2 Ggwe omanyi bwe nvumibwa, bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa:
Abalabe bange bonna bali mu maaso go.
20 # Is 63:5, Yer 15:5 Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku:
Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu:
Era abanansanyusa, naye ne siraba.
21 # Mat 27:34,48, Mak 15:36, Luk 23:36, Yok 19:26 Era bampa omususa okuba emmere yange;
Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu.
22 # Bar 11:9,10 # Zab 35:4-8; 109:6-15 Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gye bali;
Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego.
23 # 2 Bassek 6:18, Is 6:10, Dan 5:6 Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba;
Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna.
24Obafukengako ekiruyi kyo,
N'obusungu bwo obukambwe bubatuukengako.
25 # Bik 1:20 Ennyumba yaabwe erekebwenga,
So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe.
26 # Yob 19:21,22, Is 53:4 Kubanga baayigganya oyo gw'okubye;
Era boogera ku nnaku zaabo b'ofumise.
27 # Nek 4:5 Oyongerenga obubi ku bubi bwabwe:
So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo.
28 # Kuv 32:32, Is 4:3, Ez 13:9, Luk 10:20, Baf 4:3, Beb 12:23, Kub 3:5; 13:8 Basangulibwenga okuva mu kitabo ky'obulamu,
So balemenga okuwandiikibwa awamu n'abatuukirivu.
29 # Zab 20:1 Naye nze ndi mwavu, munaku:
Obulokozi bwo, ai Katonda, bungulumize waggulu.
30 # Luk 1:46 Naatenderezanga erinnya lya Katonda n'oluyimba,
Naamugulumizanga n'okwebaza.
31 # Zab 50:13,14 Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente,
Ente erina amayembe n'ebinuulo.
32 # Zab 22:26 Abawombeefu bakirabye ne basanyuka:
Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu.
33 # Zab 68:6 Kubanga Mukama awulira abaavu,
So tanyooma basibe be.
34 # Zab 96:11 Eggulu n'ensi bimutenderezenga,
Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu.
35 # Is 44:26 Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, era alizimba ebibuga bya Yuda;
Nabo balituula omwo, ne bagirya.
36 # Is 65:9 Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira;
N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo.

Currently Selected:

Zabbuli 69: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in