YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 68

68
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi, oluyimba.
1 # Kubal 10:35, Zab 92:9, Is 33:3 Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane;
Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge.
2 # Zab 97:5, Mi 1:4 Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo:
Ng'envumbo bw'esaanuuka ku muliro,
Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda.
3Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda:
Weewaawo, bajaguze n'essanyu.
4 # Zab 66:4; 89:8, Is 40:3; 57:14, Kaab 3:8 Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye:
Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu;
YA lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge.
5 # Ma 10:18, Zab 10:14, 2 Bassek 6:17 Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango,
Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu.
6 # 1 Sam 2:5, Zab 107:33; 146:7, Bik 12:7; 16:26 Katonda awa abawuulu ennyumba:
Aggya abasibe (mu kkomera) okulaba ebirungi:
Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze.
7 # Kuv 13:21, Balam 4:14, Is 46:4 Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
Bwe watambula mu ddungu;
8 # Kuv 19:18, Balam 5:4 Ensi n'ekankana,
Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda:
Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri.
9 # Zab 65:9,10 Ggwe, ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi,
N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye.
10Ekibiina kyo kyatuula omwo:
Ggwe, ai Katonda, wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo.
11 # Kuv 15:20, 1 Sam 18:6, Zab 33:9 Mukama yawa ekigambo:
Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye eringi.
12 # Yos 10:16, Balam 5:30 Bakabaka b'eggye badduka, badduka:
Omukazi asigala eka ye agaba omunyago.
13 # Balam 5:16 Muligalamira mu bisibo by'endiga,
Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza,
N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu?
14Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka,
Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni.
15Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda;
Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu.
16 # Zab 132:13,14 Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu,
Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako?
Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna.
17 # 2 Bassek 6:17 Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n'enkumi:
Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu.
18 # Balam 5:12, Bik 1:9, Bef 4:8, Kub 21:3 Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo;
Oweereddwa ebirabo mu bantu,
Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.
19 # Is 46:4 Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku,
Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera)
20 # Ma 32:39, Kub 1:18 Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli;
Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa.
21 # Zab 110:6 Naye Katonda alifumita omutwe gw'abalabe be,
N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango.
22 # Kubal 21:33-35 Mukama yayogera nti Ndikomyawo okuva mu Basani,
Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja:
23 # 1 Bassek 22:38, Zab 58:10 Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi,
Olulimi lw'embwa zo lubeerenga n'omugabo gwalwo eri abalabe bo.
24Balabye bw'otambula, ai Katonda,
Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu.
25 # Kuv 15:20, 1 Byom 13:8; 15:16 Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde,
Wakati mu bawala abakuba ebitaasa.
26 # Ma 33:28, Zab 26:12, Is 48:1 Mwebalize Katonda mu bibiina,
Ye Mukama, mmwe ab'oluzzi lwa Isiraeri.
27 # Balam 5:18, 1 Sam 9:21 Waliwo Benyamini omuto abafuga,
Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo,
Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali.
28Katonda wo alagidde amaanyi go:
Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera.
29 # 2 Byom 32:23, Is 18:7 Olwa yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi,
Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo.
30 # 2 Sam 8:3,6, Yob 40:21, Zab 22:12 Onenye ensolo ey'omu bitoogo,
Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga,
Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo;
Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo.
31 # Is 19:19,21; 45:14, Bik 8:27,28 Abalangira baliva mu Misiri;
Kuusi eryanguwa okugolola emikono gye eri Katonda.
32Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi;
Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera)
33 # Ma 10:14; 33:26, Zab 29:1,4; 150:1 Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna;
Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi.
34Mumuwe Katonda amaanyi:
Obulungi bwe bufuga Isiraeri,
N'amaanyi ge gali mu ggulu.
35 # Zab 29:11, Is 40:29 Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu:
Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be.
Katonda yeebazibwe.

Currently Selected:

Zabbuli 68: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in