YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 67

67
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Zabbuli, oluyimba.
1 # Kubal 6:25, Zab 4:6 Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa,
Atwakizenga amaaso ge; (Seera)
2 # Luk 2:30-32, Bik 18:25,26, Tit 2:11 Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi,
Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna.
3Abantu bakutenderezenga, ai Katonda;
Abantu bonna bakutenderezenga.
4 # Zab 9:8 Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu:
Kubanga olisalira abantu emisango egy'ensonga,
Era olifugira amawanga mu nsi. (Seera)
5Abantu bakutenderezenga, ai Katonda;
Abantu bonna bakutenderezenga,
6 # Leev 26:4, Zab 85:12, Ez 34:27 Ensi ereese ekyengera kyayo:
Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7 # Zab 22:27 Katonda anaatuwanga omukisa;
N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga.

Currently Selected:

Zabbuli 67: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in