YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 66

66
Ya mukulu w'abayimbi. Oluyimba. Zabbuli.
1 # Zab 98:4 Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ensi yonna:
2 # Is 42:12 Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye:
Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa.
3 # Zab 18:44; 65:5 Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa!
Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira.
4Ensi yonna erikusinza,
Erikuyimbira ggwe;
Baliyimbira erinnya lyo. (Seera)
5 # Zab 46:8 Mujje mulabe emirimu gya Katonda;
Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu.
6 # Kuv 14:21, Yos 3:17; 4:23, Is 63:12 Ennyanja yagifuula olukalu:
Baayita mu mugga n'ebigere:
Awo we twamusanyukirira.
7Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna;
Amaaso ge gatunuulira amawanga:
Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)
8Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe,
Muwulize eddoboozi erimutendereza:
9 # Zab 121:3 Akwatirira emmeeme yaffe obutafa,
Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana.
10 # Yob 23:10, Zek 13:9 Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza:
Watukema nga bwe bakema effeeza.
11 # Kung 1:13, Ez 12:13 Watuyingiza mu kitimba;
Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe;
12 # Is 43:2; 51:23 Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe;
Twayita mu muliro ne mu mazzi;
Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga.
13 # Zab 50:14 Naayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa,
Naakusasula obweyamo bwange,
14 # Zab 18:6 Emimwa gyange bwe gyayogera,
N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku.
15Naakuwa ebyokwokya ebya ssava,
N'ebyokwoteza eby'endiga eza seddume;
Naawaayo ente n'embuzi. (Seera)
16Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda,
Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange.
17Namukoowoola n'akamwa kange,
Era yatenderezebwa n'olulimi lwange.
18 # Nge 28:9, Is 1:15; 59:2, Yok 9:31 Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange,
Mukama taawulire:
19 # Zab 116:1,2 Naye mazima Katonda awulidde;
Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.
20Katonda yeebazibwe,
Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe.

Currently Selected:

Zabbuli 66: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in