YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 63

63
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
1 # Zab 84:2; 143:6, Is 26:9; 32:2 Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya:
Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe,
Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
2 # Zab 78:61 Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu,
Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.
3Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu;
Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
4 # Zab 28:2; 104:33 Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu:
Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 # Zab 36:8 Emmeeme yange enekkusibwanga ng'obusomyo n'amasavu;
N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka;
6 # Zab 42:8; 119:148 Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange,
Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro.
7 # Zab 17:8 Kubanga wabeera mubeezi wange,
Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
8 # Kubal 14:24, Zab 41:12 Emmeeme yange efuga okukugoberera:
Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 # Zab 55:15, Ez 31:14, Bef 4:9 Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza,
Baligenda wansi w'ettaka.
10Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala:
Balibeera mugabo gwa bibe.
11 # Ma 6:13, Yob 5:16, Zab 107:42, Is 65:16 Naye kabaka alisanyukira Katonda:
Buli amulayira ye alyenyumiriza;
Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.

Currently Selected:

Zabbuli 63: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in