YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 64

64
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1Owulirenga eddoboozi lyange, ai Katonda, mu kwemulugunya kwange:
Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe.
2Onkweke eri abakozi b'obubi abateesa mu kyama;
N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu:
3 # Zab 57:4, Ma 10:21 Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala,
Abateebye obusaale bwabwe bye bigambo eby'obukambwe:
4 # Zab 11:2 Balasize oyo eyatuukirira mu bifo eby'ekyama:
Baamulasa nga talaba, ne batatya.
5 # Yob 22:13, Zab 140:5, Ez 13:22 Bagumyagana emyoyo mu kuteesa obubi;
Bateesa okutega emitego mu kyama;
Boogera nti Anaagiraba ani?
6Banoonya ebitali bya butuukirivu; boogera nti Tumaze okunoonyeza ddala nga tufuba:
N'okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biri ng'obuziba.
7Naye Katonda alibalasa;
Balifumitibwa n'akasaale nga tebalowooza.
8 # Nge 12:13; 18:7, Yer 48:27 Bwe batyo bwe baneesittazibwanga, olulimi lwabwe bennyini nga lubagwisa:
Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe.
9 # Yer 50:28; 51:10 Era abantu bonna banaatyanga;
Ne batendera omulimu gwa Katonda,
Ne balowooza n'amagezi bye yakola.
10 # Zab 32:11 Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga;
Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga.

Currently Selected:

Zabbuli 64: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in