Zabbuli 63
63
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
1 #
Zab 84:2; 143:6, Is 26:9; 32:2 Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya:
Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe,
Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
2 #
Zab 78:61
Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu,
Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.
3Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu;
Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
4 #
Zab 28:2; 104:33 Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu:
Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 #
Zab 36:8
Emmeeme yange enekkusibwanga ng'obusomyo n'amasavu;
N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka;
6 #
Zab 42:8; 119:148 Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange,
Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro.
7 #
Zab 17:8
Kubanga wabeera mubeezi wange,
Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
8 #
Kubal 14:24, Zab 41:12 Emmeeme yange efuga okukugoberera:
Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 #
Zab 55:15, Ez 31:14, Bef 4:9 Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza,
Baligenda wansi w'ettaka.
10Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala:
Balibeera mugabo gwa bibe.
11 #
Ma 6:13, Yob 5:16, Zab 107:42, Is 65:16 Naye kabaka alisanyukira Katonda:
Buli amulayira ye alyenyumiriza;
Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.
Currently Selected:
Zabbuli 63: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: