Zabbuli 57
57
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: bwe yadduka Sawulo, mu mpuku.
1 #
Zab 17:8; 91:4, Is 26:20 Onsaasire, ai Katonda, onsaasire;
Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe:
Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga,
Okutuusa ebibonoobono ebyo lwe biriggwaawo.
2 #
Zab 138:8
Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo;
Katonda ankolera byonna.
3 #
Zab 18:16; 40:11; 43:3; 56:1 Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola,
Oyo ayagala okummira bw'anvuma; (Seera)
Katonda alituma okusaasira kwe n'amazima ge.
4 #
Zab 64:3, Nge 30:14 Emmeeme yange eri mu mpologoma;
Ngalamidde mu abo abaaka n'omuliro,
Be baana b'abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale,
N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi.
5 #
Zab 108:5
Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu;
Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.
6 #
Yob 18:8, Zab 7:15 Bateekeddeteekedde akatimba ebigere byange;
Emmeeme yange ekutamye:
Bansimidde obunnya mu kkubo lyange;
Babuguddemu wakati bo bennyini. (Seera)
7 #
Zab 108:1-5
#
Zab 112:7
Omutima gwange gunywedde, ai Katonda, omutima gwange gunywedde:
Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza.
8 #
Balam 5:12, 1 Byom 15:16, Zab 16:9 Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n'ennanga:
Nze nzekka naazuukuka enkya mu matulutulu.
9Ndikwebaliza ggwe, ai Mukama, mu bantu:
Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga.
10 #
Zab 36:5
Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu,
N'amazima go gatuuka mu bbanga.
11Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu;
Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.
Currently Selected:
Zabbuli 57: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.