Zabbuli 58
58
Ya mukulu w'abayimbi: ey'ekyalutasukesi. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu.
1Okwogera mwogera eby'obutuukirivu nga musirika?
Musala omusango ogw'amazima, mmwe abaana ba bantu?
2Naye mu mitima gyammwe mukola eby'obubi;
Ettima ery'emikono gyammwe gwe musango gwe musala mu nsi.
3 #
Zab 51:5, Is 48:8 Ababi bakyama okuva mu lubuto:
Bwe bazaalibwa, amangu ago ne beekooloobya, nga boogera eby'obulimba.
4 #
Ma 32:33, Zab 140:3 Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota:
Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo;
5 #
Yer 8:17
Eritawulira ddoboozi lya balozi,
Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya.
6 #
Yob 4:10, Zab 3:7 Ai Katonda, omenye amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe:
Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, ai Mukama.
7 #
Zab 112:10
Basaanuuke ng'amazzi agakulukuta amangu:
Bw'ateeba n'obusaale bwe, babe nga bazikirizibwa.
8 #
Yob 3:16
Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo:
Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana.
9 #
Zab 118:12, Nge 10:25 Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa,
Aligaggirawo ddala n'embuyaga, amabisi n'ago agaaka gonna.
10 #
Ma 32:43e, Yob 22:19, Zab 68:23 Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo
Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi.
11 #
Lub 18:25, Zab 9:8; 67:4, Mub 12:14, Is 3:10 Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa:
Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.
Currently Selected:
Zabbuli 58: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.