Zabbuli 56
56
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekiyonaseremu-lekokimu. Zabbuli ya Dawudi: Mikutamu: Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.
1 #
Zab 124:3, Nge 1:12 Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze:
Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.
2Abalabe bange baagala okummira
obudde okuziba:
Kubanga abalwana nange n'amalala bangi.
3 #
1 Sam 30:6, 2 Byom 20:3 Buli lwe nnaatyanga,
Neesiganga ggwe.
4 #
Zab 118:6
Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye:
Katonda gwe nneesize, siritya;
Ab'omubiri bayinza kunkola ki?
5Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde:
Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw'obubi.
6 #
Zab 59:3; 71:10 Beekuŋŋaanya, beekweka,
Bakebera ebisinde byange,
Nga bwe baateega emmeeme yange.
7Baliwona olw'obutali butuukirivu?
Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.
8 #
2 Bassek 20:5, Mal 3:16 Ggwe obala okutambulatambula kwange:
Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko;
Tegawandiikibwa mu kitabo kyo?
9 #
Zab 102:2; 118:6, Bar 8:31 Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu:
Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange
10Mu Katonda nditendereza ekigambo kye:
Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11Katonda gwe nneesize, siritya;
Abantu bayinza okunkola ki?
12 #
Zab 50:14
Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda:
Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza eri ggwe.
13 #
Yob 33:30, Zab 49:19; 116:8,9 Kubanga wawonya emmeeme yange okufa:
Tewawonya bigere byange okwesittala?
Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda
Mu musana ogw'abantu abalamu.
Currently Selected:
Zabbuli 56: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.