Zabbuli 55
55
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Masukiri ya Dawudi.
1 #
Zab 54:2; 86:6 Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda;
So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange.
2 #
Zab 55:17
Mpulira, onziremu:
Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda;
3 #
2 Sam 16:7,8 Olw'eddoboozi ly'omulabe,
Olw'okujooga kw'ababi;
Kubanga bansuulako ebikolwa ebibi,
Era banjigganya mu busungu.
4 #
Mat 26:38
Omwoyo gunnuma nnyo munda yange:
N'entiisa ey'okufa enguddeko.
5 #
Yob 21:6, Is 21:4 Okutya n'okukankana kuntuuseeko,
N'okwekanga kunnumbye.
6Ne njogera nti Singa mbadde n'ebiwaawaatiro ng'ejjiba!
Nandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula.
7 #
Yer 9:2
Laba, nandikyamidde wala,
Nandisuze mu ddungu. (Seera)
8Nandyanguye okudduka mu kiddukiro
Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi.
9 #
Yer 6:7
Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe:
Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga.
10Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo:
Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo.
11Okwonoona kuli wakati mu kyo:
Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo.
12 #
2 Sam 15:12, Yob 19:5,14,19, Zab 41:9 Kubanga omulabe si ye yanvuma;
Nandiyinzizza okugumiikiriza:
So si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako;
Nandyekwese mu maaso ge:
13Wabula ggwe, muntu munnange,
Eyatambula nange, mukwano gwange gwe nnamanyiira ennyo.
14Twateesanga ebigambo n'essanyu fembi,
Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina.
15 #
Kubal 16:30,33 Okufa kubatuukeko nga tebalowooza,
Bakke mu bunnya nga bakyali balamu:
Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.
16Nze naakaabiriranga Katonda;
Era Mukama anandokolanga.
17 #
Zab 5:3; 92:2; 141:2, Dan 6:10, Bik 10:9 Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga:
Naye anaawuliranga eddoboozi lyange.
18Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga:
Kubanga abaali balwana nange bangi.
19 #
Ma 33:27
Katonda aliwulira, alibaddamu,
Ye oyo abeerera edda n'edda lyonna, (Seera)
Alibaddamu abo abatalaba biggya,
Abatatya Katonda.
20Yagolola emikono gye ku abo abaali batabaganye naye:
Yanyooma endagaano ye.
21 #
Zab 28:3; 57:4, Nge 5:3 Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo,
Naye omutima gwe kulwana:
Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta,
Naye byali bitala ebisowoddwamu.
22 #
Zab 37:5,24 Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga:
Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.
23 #
Yob 15:32, Zab 5:6; 59:11; 69:15, Nge 10:27 Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira:
Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe;
Naye nze neesiganga ggwe.
Currently Selected:
Zabbuli 55: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.