YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 54

54
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ebintu eby'engoye. Masukiri ya Dawudi: Abazifu bwe bajja ne bagamba Sawulo nti Dawudi teyeekwekedde ewaffe?
1Ndokola, ai Katonda, n'erinnya lyo,
Onsalire omusango mu maanyi go.
2 # Zab 55:1 Wulira okusaba kwange, ai Katonda;
Otege okutu eri ebigambo eby'akamwa kange.
3 # 1 Sam 23:15, Zab 86:14 Kubanga bannaggwanga bangolokokeddeko,
N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange:
Tebateese Katonda mu maaso gaabwe. (Seera)
4 # Zab 118:6,7, Is 41:10 Laba, Katonda ye mubeezi wange:
Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange.
5 # Zab 143:12 Aliwalana obubi obwo ku balabe bange:
Obazikirize mu mazima go.
6 # Zab 52:9 Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe:
Neebazanga erinnya lyo, ai Mukama, kubanga ddungi.
7 # Zab 59:10; 92:11; 112:8; 118:7 Kubanga anziye mu kweraliikirira kwonna;
N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange.

Currently Selected:

Zabbuli 54: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in