Zabbuli 53
53
Ya mukulu w'abayimbi; ey'ekimakalasi. Masukiri ya Dawudi.
1 #
Zab 10:4
#
Zab 14:1-7
Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti Tewali Katonda.
Bavunze, bakoze obubi obw'omuzizo;
Tewali akola bulungi.
2 #
2 Byom 19:3, Zab 102:19 Katonda yatunula ku baana b'abantu ng'ayima mu ggulu,
Alabe nga waliwo abategeera,
Abanoonya Katonda.
3 #
Bar 3:10-12
Buli muntu mu abo azze ennyuma; bonna bagwagwawadde wamu;
Tewali akola bulungi, tewali n'omu.
4 #
Zab 79:6, Is 1:3, Yer 4:22; 10:25, Kos 7:7, Mi 3:3 Abakola obubi tebalina magezi?
Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere,
Ne batakaabira Katonda.
5 #
Leev 26:36, Zab 141:7, Nge 28:1 Awatali kya kutya we batiira ennyo:
Kubanga Katonda asaasaanyizza amagumba g'oyo akukolako olusiisira;
Obakwasizza ensonyi, kubanga Katonda yabagoba.
6 #
Zab 85:1, Ez 39:25, Kos 6:11, Yo 3:1 Singa obulokovu bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni!
Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa,
Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.
Currently Selected:
Zabbuli 53: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.