YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 52

52
Ya mukulu w'abayimbi. Masukiri ya Dawudi: Dowegi Omwedomu bwe yajja n'abuulira Sawulo: n'amugamba nti Dawudi azze mu nnyumba ya Akimereki.
1 # 1 Sam 22:9,10 Lwaki okwenyumiriza mu ttima, ggwe omuzira?
Okusaasira kwa Katonda kwa lubeerera.
2 # Zab 50:19; 101:7, Leev 26:36 Olulimi lwo luteesa eby'obubi obwereere;
Ng'akamwano ak'obwogi, lukola n'obulimba.
3 # Yer 9:4,5 Oyagala ebibi okusinga ebirungi,
N'okulimba okusinga okwatula amazima. (Seera)
4Oyagala ebigambo byonna ebiruma,
Ggwe olulimi olw'obulimba.
5 # Zab 27:13, Nge 2:22 Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna,
Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo,
Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. (Seera)
6 # Yob 22:19, Zab 40:3 Era n'abatuukirivu baliraba, balitya,
Balimusekerera, nga boogera nti
7 # Yob 31:24,25, Zab 49:6 Laba, ye wuuyo ataafuula Katonda maanyi ge;
Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi,
Ne yeenyweza mu bubi bwe.
8 # Zab 92:12,13; 128:3, Yer 11:16 Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni oguloka ennyo mu nnyumba ya Katonda:
Neesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe.
9 # Zab 54:6 Naakwebazanga ennaku zonna, kubanga ggwe wakola bw'otyo:
Era naalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.

Currently Selected:

Zabbuli 52: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in