Zabbuli 51
51
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi: Nasani nnabbi bwe yajja gy'ali, bwe yali ng'amaze okuyingira eri Basuseba.
1 #
Zab 106:45, Is 44:22, Bik 3:19 Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo;
Mu bungi obw'okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna.
2 #
Yer 4:14, Bik 22:16, Beb 9:14, 1 Yok 1:7 Onnaalize ddala mu bubi bwange,
Onnongoose mu kwonoona kwange.
3 #
Zab 32:5
Kubanga njatula ebyonoono byange;
N'ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.
4 #
Lub 39:9, 2 Sam 12:13, Luk 15:18,21, Bar 3:4 Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona.
Ne nkola ekibi mu maaso go:
Obeere omutuukirivu bw'oyogera,
Osinge omusango bw'osala.
5 #
Yob 15:14, Bar 5:12,19 Laba, nze natondebwa mu bubi;
Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
6 #
Yob 38:36
Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima;
Era mu mwoyo ogutalabika onommanyisa amagezi.
7 #
Leev 14:4,6,7, Zab 51:2, Is 1:18 Ontukuze n'ezoobu, nange naaba mulungi:
Onnaaze, nange naaba mutukuvu okusinga omuzira.
8Ompulize essanyu n'okwesiima;
Amagumba ge wamenya gasanyuke.
9 #
Yer 16:17, 1 Sam 10:9, Zab 24:4; 78:37, Yer 24:7, Ez 36:26 Okise amaaso go mu bibi byange,
Osangule ebyonoono byange byonna.
10 #
1 Sam 10:9, Zab 24:4; 78:37, Yer 24:7, Ez 36:26 Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda;
Onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.
11 #
Lub 4:14, 2 Bassek 13:23, Yer 7:15 Tongoba w'oli;
So tonziyaako omwoyo gwo omutukuvu.
12 #
Bar 8:15, 2 Kol 3:17 Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo:
Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe.
13 #
Luk 22:32
Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi;
N'abalina ebibi balikyukira gy'oli.
14 #
2 Sam 11:17; 12:19, Zab 24:5; 71:15 Omponye mu musango gw'omusaayi, ai Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange;
Olulimi lwange luliyimba nnyo obutuukirivu bwo.
15Ai Mukama, yasamya emimwa gyange;
N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo.
16 #
Zab 40:6
Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naakukuwadde;
Ebiweebwayo ebyokebwa tebikuwoomera.
17 #
Zab 34:18
Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese:
Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.
18Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala:
Okolere Yerusaalemi bbugwe.
19 #
Ma 33:10, Zab 4:5, Mal 3:3, 2 Byom 19:3, Zab 102:19 N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba:
Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.
Currently Selected:
Zabbuli 51: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.