YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 44

44
Ya mukulu w'abayimbi; zabbuli ya batabani ba Koola. Masukiri.
1 # Kuv 10:2; 13:8,14, Zab 77:5; 78:3 Twawuliranga n'amatu gaffe, ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga,
Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.
2 # Kuv 15:17, Yos 3:10, Zab 80:8 Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo;
Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala.
3 # Ma 10:15, Yos 24:12, Kos 1:7 Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe,
Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola:
Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go,
Kubanga baalaba ekisa eri ggwe.
4 # Zab 74:12 Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda:
Lagira obulokozi eri Yakobo.
5 # Zab 60:12, Dan 8:4 Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi:
Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe.
6 # 1 Sam 17:47, Zab 33:16 Kubanga ssiryesiga mutego gwange,
So ekitala kyange si kye kirindokola.
7Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe,
Era wabaswaza abatukyawa.
8 # Zab 34:2 Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba,
Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)
9 # 2 Sam 5:24, Zab 60:1,10; 74:1; 108:11 Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi;
So totabaala n'eggye lyaffe.
10 # Leev 26:17, Yos 7:8,12 Otuzza nnyuma eri abalabe:
N'abo abatukyawa beenyagira.
11 # Ma 4:27; 28:64, 2 Bassek 17:6, Zab 106:27, Ez 20:23, Luk 21:24 Watuwaayo ng'endiga okuba ennyama;
Watusaasaanya mu mawanga.
12 # Balam 2:14; 3:8, Is 52:3 Abantu bo obatundira bwereere,
So n'omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo.
13 # Zab 79:4; 80:6 Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe,
Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
14 # Yer 24:9 Otufuula olugero mu mawanga,
Okunyeenyezebwa kw'omutwe mu bantu.
15Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde,
N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde,
16 # Zab 8:2 Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma;
Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga.
17 # Dan 9:13 Ebyo byonna bitutuuseeko; naye
tetukwerabidde,
So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.
18 # Zab 119:157 Omutima gwaffe teguzze nnyuma,
So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;
19Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky'ebibe,
N'otusaanikiza ekisiikirize eky'okufa.
20Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe,
Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya,
21 # 1 Sam 16:7, Zab 139:1, Yok 2:25, Bar 2:16, Beb 4:13 Ekyo Katonda talikikenneenya?
Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi.
22 # Bar 8:36 Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe;
Tuli ng'endiga ez'okusalibwa.
23 # Zab 7:6; 44:9 Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama?
Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.
24 # Yob 13:24 Kiki ekikukwesezza amaaso go,
N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira?
25 # Zab 119:25 Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu:
Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka.
26 # Zab 25:22 Golokoka okutuyamba,
Otununule olw'ekisa kyo.

Currently Selected:

Zabbuli 44: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in