Zabbuli 43
43
1 #
1 Sam 24:15, Zab 5:6; 7:8 Onsalire omusango, ai Katonda, era ompolereze ensonga eri eggwanga eritatya Katonda:
Ondokole eri omuntu ow'obulimba atali mutuukirivu.
2 #
Zab 31:4; 42:9; 44:9 Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala?
Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?
3 #
Zab 2:6; 57:3; 84:1 Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye:
Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.
4Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda,
Eri Katonda essanyu lyange eritasingika;
Ne ku nnanga ndikutendereza, ai Katonda, Katonda wange.
5 #
Zab 42:5
Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange?
Kiki ekikweraliikiriza munda yange?
Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza,
Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange.
Currently Selected:
Zabbuli 43: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.