YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 45

45
Ya mukulu w'abayimbi: ey'ekisosannimu; zabbuli ya batabani ba Koola. Masukiri. Oluyimba olw'okwagala.
1Omutima gwange gujjudde musera ekigambo ekirungi:
Njogera ebigambo bye mpandiise bya kabaka:
Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu.
2 # Luk 4:22 Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi;
Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo:
Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna.
3 # Zab 21:5; 24:8, Kub 1:16; 19:15 Weesibe ekitala kyo mu kiwato
kyo, ggwe ow'amaanyi.
Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo.
4 # Kub 6:2 Ne mu bukulu bwo weebagale owangule,
Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu:
N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa.
5Obusaale bwo bwa bwogi;
Amawanga gagwa wansi mu maaso go;
Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka.
6 # Zab 93:2 # Beb 1:8,9 Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna:
Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
7 # 1 Bassek 1:39, Zab 11:7; 21:6, Is 61:1, Bik 10:38 Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi:
Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako
Amafuta ag'essanyu okusinga banno.
8Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa mooli ne akaloosi ne kasiya;
Mu mayumba ag'amasanga ennanga zikusanyusizza.
9 # 1 Bassek 2:19; 9:28 Mu bakyala bo mulimu abambejja:
Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri.
10Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo;
Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo;
11 # Is 54:5 Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo:
Kubanga ye Mukama wo; era omusinze.
12 # Yob 11:19, Zab 22:29; 72:10 N'omuwala wa Ttuulo alijja n'ekirabo;
Era n'abagagga ab'omu bantu balikwegayirira ekisa kyo.
13 # Kub 19:7,8 Omuwala wa kabaka munda mu lubiri wa kitiibwa kyereere:
Olugoye lwe lukoleddwamu ne zaabu.
14Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde eby'amabala:
Bawala banne abamugoberera
Banaaleetebwa gy'oli.
15Banaaleetebwa n'okusanyuka
n'okujaguza:
Banaayingira mu nnyumba ya kabaka.
16 # 1 Peet 2:9, Kub 1:6 Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo,
B'olifuula abalangira mu nsi zonna.
17 # Mal 1:11 Najjukizanga erinnya lyo emirembe gyonna:
Amawanga kyeganaavanga gakwebaza emirembe n'emirembe.

Currently Selected:

Zabbuli 45: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in