Zabbuli 42
42
EKITABO 2
Ya mukulu w'abayimbi; Masukiri ya batabani ba Koola.
1 #
Yo 1:20
Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi,
Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, ai Katonda.
2 #
Zab 63:1; 84:2,7, Is 55:1, Yok 7:37, 1 Bas 1:9 Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, ku lwa Katonda omulamu:
Ndituuka ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda?
3 #
Zab 80:5; 115:2, Mi 7:10 Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro,
Bwe baŋŋamba obudde okuziba nti Katonda wo ali luda wa?
4 #
1 Sam 1:15, 2 Sam 6:15, Zab 62:8, Is 30:29 Bino mbijjukira, ne nfuuka emmeeme yange munda yange,
Bwe nnagenda n'ekibiina, ne mbatwala mu nnyumba ya Katonda,
N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza olunaku.
5 #
Zab 43:5; 77:3, Kung 3:24, Mat 26:38, Yok 12:27 Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange?
Kiki ekikweraliikiriza munda yange?
Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza
Olw'obulamu obw'amaaso ge.
6 #
Ma 3:9, Yon 2:7 Ai Katonda wange, emmeeme yange ekutamye munda yange:
Kyenva nkujjuukirira mu nsi ya Yoludaani,
Ne ku nsozi Kerumooni, ne ku kasozi Mizali,
7 #
Zab 88:7, Yon 2:3 Obuziba bukoowoola obuziba amazzi go ageefuukuula bwe gayira:
Amayengo go gonna n'amasingiisira go gampiseeko.
8 #
Ma 28:8, Yob 35:10, Zab 77:6; 133:3; 149:5 Naye Mukama anaalagiranga ekisa kyo emisana,
N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange.
Kwe kusaba Katonda ow'obulamu bwange.
9 #
2 Sam 22:2, Zab 38:6 Ndigamba Katonda olwazi lwange nti Kiki ekikunneerabizza?
Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?
10Ng'ekitala mu magumba gange, abalabe bange banvuma;
Nga baŋŋamba obutayosa nti Katonda wo ali ludda wa?
11Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange?
Kiki ekikweraliikiriza munda yange?
Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza,
Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange.
Currently Selected:
Zabbuli 42: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.