1
Zabbuli 42:11
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange.
Compare
Explore Zabbuli 42:11
2
Zabbuli 42:1-2
Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, ai Katonda. Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, ku lwa Katonda omulamu: Ndituuka ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda?
Explore Zabbuli 42:1-2
3
Zabbuli 42:5
Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza Olw'obulamu obw'amaaso ge.
Explore Zabbuli 42:5
4
Zabbuli 42:3
Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, Bwe baŋŋamba obudde okuziba nti Katonda wo ali luda wa?
Explore Zabbuli 42:3
5
Zabbuli 42:6
Ai Katonda wange, emmeeme yange ekutamye munda yange: Kyenva nkujjuukirira mu nsi ya Yoludaani, Ne ku nsozi Kerumooni, ne ku kasozi Mizali
Explore Zabbuli 42:6