Zabbuli 41
41
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Nge 14:21, Mak 10:21 Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu:
Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi.
2 #
Zab 27:12
Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi;
So tomuwangayo eri abalabe be okumukola bye baagala.
3Mukama anaamujjanjabanga ng'ayongobera ku kitanda:
Ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw'alwala.
4 #
Zab 6:2; 147:3 Nayogera nti Ai Mukama, onsaasire:
Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe.
5Abalabe bange banjogerako obubi nti
Alifa ddi, erinnya lye ne libula?
6 #
Zab 12:2; 144:8 Era ne bw'ajja okundaba, ayogera ebitaliimu;
Omutima gwe gwekuŋŋaanyiza obutali butuukirivu:
Bw'ava mu nnyumba, abubuulira.
7Bonna abankyawa bangeyera wamu:
Bateesa ebigambo okunkola akabi.
8Boogera nti Endwadde embi emukutte:
Kaakano bw'agalamidde, tagenda kugolokoka nate.
9 #
2 Sam 15:12, Zab 55:12,13, Yer 20:10, Ob 7, Mak 14:18, Yok 13:18 Era ne munnange mukwano gwange nze, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange,
Ansitulidde ekisinziiro kye.
10Naye ggwe, ai Mukama, onsaasire, ongolokose,
Ndyoke mbawalanire eggwanga.
11 #
2 Sam 15:25,26 Kyenvudde mmanya ng'onsanyukira,
Kubanga omulabe wange tampangula.
12 #
Yob 36:7, Zab 63:8 Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange,
Era onteeka mu maaso go ennaku zonna.
13 #
Zab 72:18; 106:48, Luk 1:68 Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa isiraeri,
Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe.
Amiina, era Amiina.
Currently Selected:
Zabbuli 41: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.