YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 40

40
1Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
# Zab 37:7; 39:12 Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza;
N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange.
2 # Zab 27:5; 69:2,14 Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi;
N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange.
3 # Zab 33:3; 52:6 Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe:
Bangi abanaalabanga, ne batya,
Ne beesiga Mukama.
4 # Zab 2:12; 125:5 Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama,
N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.
5 # Yob 5:9, Zab 139:17,18 Ebikolwa eby'ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi,
N'ebirowoozo byo ebiri gye tuli:
Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu;
Singa mbadde njagala okubibuulira n'okubyogerako,
Tebibalika obungi.
6 # 1 Sam 15:22, Zab 51:16, Kos 6:6, Mat 9:13 # Beb 10:5-7 Ssaddaaka n'ebiweebwayo tobisanyukira;
Amatu gange ogawulizza:
Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala.
7 # Luk 24:44 Ne ndyoka njogera nti Laba, nzize;
Mu muzingo ogw'ekitabo ekyampandiikwako:
8 # Yob 23:12, Zab 119:35, Yer 15:16, Yok 4:34, Bar 7:22 Nsanyuka okukola by'oyagala, ai Katonda wange;
Weewaawo, amateeka go gali
mu mutima gwange munda.
9 # Yos 22:22, Zab 22:22,25, Bik 20:20,27, Bar 1:16,17 Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene;
Laba, ssiibunizenga mimwa gyange,
Ai Mukama, ggwe omanyi.
10Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda;
Mbuulidde obwesige bwo n'obulokozi bwo:
Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
11 # Zab 57:3; 61:7 Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi:
Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.
12 # Zab 38:4,10; 116:3 Kubanga obubi obutabalika bunneetoolodde,
Obutali butuukirivu bwange buntuuseeko n'okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu;
Businga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese.
13 # Zab 70:1-5 # Zab 38:22 Kkiriza, ai Mukama, okumponya:
Yanguwa okunnyamba, ai Mukama.
14 # Zab 6:10; 35:4 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna wamu.
Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza:
Bazzibwe ennyuma banyoomebwe
Abo abasanyukira nze okulaba akabi.
15 # Zab 35:21,25 Balekebwe olw'ensonyi zaabwe
Abo abansooza.
16 # Zab 35:27 Bonna abakunoonya bakusanyukire bajaguze:
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti
Mukama agulumizibwe.
17 # Zab 86:1, 1 Peet 5:7 Naye nze ndi mwavu, neetaaga;
Mukama andowooza:
Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange;
Tolwawo, ai Katonda wange.

Currently Selected:

Zabbuli 40: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in