1
Zabbuli 40:1-2
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza; N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange. Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi; N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange.
Compare
Explore Zabbuli 40:1-2
2
Zabbuli 40:3
Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama.
Explore Zabbuli 40:3
3
Zabbuli 40:4
Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.
Explore Zabbuli 40:4
4
Zabbuli 40:8
Nsanyuka okukola by'oyagala, ai Katonda wange; Weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.
Explore Zabbuli 40:8
5
Zabbuli 40:11
Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi: Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.
Explore Zabbuli 40:11