Zabbuli 39
39
Ya mukulu w'abayimbi, ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
1 #
1 Bassek 2:4, Yob 2:10, Zab 34:13 Nayogera nti Neekuumanga amakubo gange,
Nnemenga okwonoonya olulimi lwange:
Naasibanga akamwa kange n'olukoba,
Omubi ng'ali mu maaso gange.
2 #
Yob 40:4,5 Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera;
Okunakuwala kwange ne kweyongera.
3 #
Yer 20:9, Luk 24:32 Omutima gwange ne gwaka munda yange;
Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera:
Ne ndyoka njogera n'olulimi lwange:
4 #
Zab 90:12
Mukama, ontegeeze enkomerero yange,
N'ekigera eky'ennaku zange bwe kiri;
Ntegeere bwe ndi omumenyefu.
5 #
Yob 14:1,2, Zab 62:9; 89:47 Laba, ennaku zange wazikola ng'enta;
N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli:
Mazima, buli muntu, bw'anywerera ddala, mukka bukka. (Seera)
6 #
Yob 27:16,17, Mub 2:18,21, Luk 12:20, 1 Kol 7:31, Yak 4:14 Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu.
Mazima, beeraliikiririra bwereere:
Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.
7 #
Zab 38:15
Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki?
Mu ggwe mwe nnina essuubi.
8 #
Zab 44:13
Onziye mu byonoono byange byonna;
Tonfuula kivume kya basirusiru.
9 #
2 Sam 16:10, Yob 2:10, Zab 38:13 Nasiruwala, saayasamya kamwa kange;
Kubanga wakikola.
10Onzigyeko omuggo gwo:
Mmaliddwamu amaanyi olw'okukuba kw'omukono gwo.
11 #
Yob 13:28, Zab 39:5; 49:14 Bw'obuuliriranga omuntu n'okunenya olw'obutali butuukirivu,
Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng'ennyenje:
Mazima, buli muntu mukka. (Seera)
12 #
Leev 25:23, 1 Byom 29:15, Zab 102:1, Beb 11:13 Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange;
Tosirikira maziga gange:
Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli,
Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali.
13 #
Yob 10:20,21; 14:10-12 Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi,
Nga sinnava muno ne ssibeerawo.
Currently Selected:
Zabbuli 39: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.