Zabbuli 37
37
Zabbuli ya Dawudi.
1 #
Nge 24:1,19 Teweeraliikiriranga lw'abo abakola obubi,
So tokwatibwanga buggya ku abo abakola ebitali bya butuukirivu.
2 #
Zab 90:5,6; 129:6 Kubanga balisalwa mangu ng'essubi,
Baliwotoka ng'omuddo ogumera.
3 #
Zab 62:8, Is 26:4 Weesigenga Mukama, okolenga obulungi;
Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa.
4Era sanyukiranga Mukama:
Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba.
5 #
Zab 22:8, 1 Peet 5:7 Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama;
Era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga.
6 #
Is 58:8,10 Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana,
N'omusango gwo ng'ettuntu.
7 #
Zab 62:1; 73:3, Is 30:15, Yer 12:1 Sirika eri Mukama, omulindirirenga
n'okugumiikiriza:
Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye,
Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi.
8 #
Bef 4:26, Yak 1:19 Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi:
Teweeraliikiriranga; okwagala obwagazi okuleta obubi.
9 #
Nge 2:21, Is 57:13; 60:21 Kubanga abakola obubi balizikirizibwa:
Naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi.
10 #
Yob 24:24
Kubanga waliba akaseera katono,
n'omubi talibeerawo.
Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo.
11 #
Is 32:17, Mat 5:5 Naye abawombeefu balisikira ensi:
Era banaasanyukiranga emirembe emingi.
12 #
Zab 31:13
Omubi yeekoba ku mutuukirivu,
Era aluma bujigi ng'amusunguwalidde.
13 #
Zab 2:4
Mukama alimusekerera:
Kubanga alaba ng'olunaku lwe lujja.
14Ababi basowodde ekitala, baleeze omutego gwabwe;
Okusuula omwavu n'omunafu,
Okutta abo abatambulira mu kkubo n'amazima.
15Ekitala kyabwe kirifumita omutima gwabwe bo,
N'emitego gyabwe girimenyeka.
16 #
Nge 15:16; 16:18, 1 Tim 6:6 Ebitono omutuukirivu by'alina
Bisinga obugagga obw'ababi abangi.
17 #
Zab 10:15
Kubanga emikono gy'ababi girimenyeka:
Naye Mukama anyweza abatuukirivu.
18 #
Zab 1:6; 37:9 Mukama amanyi ennaku z'abo abatuukiridde:
N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.
19 #
Yob 5:20, Zab 33:19 Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi:
Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga.
20 #
Zab 68:2, Kos 13:3 Naye ababi balibula,
N'abalabe ba Mukama baliba
ng'ekisinga amasavu mu birundibwa:
Balibula; balibulira ddala mu mukka.
21Omubi yeewola, n'atasasula nate:
Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba.
22 #
Zab 37:9
Kubanga abaweebwa omukisa gwe balisikira ensi;
N'abo abakolimirwa ye balizikirizibwa.
23Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama;
Era asanyukira ekkubo lye.
24 #
Nge 24:16, Mi 7:8, 2 Kol 4:9 Newakubadde ng'agwa, talisuulirwa ddala wansi:
Kubanga Mukama amunyweza n'omukono gwe.
25Nali muto, kaakano nkaddiye;
Naye sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa,
Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.
26 #
Ma 15:8,10, Zab 112:5,9, Mat 5:42, Luk 6:34,35 Obudde okuziba akola eby'ekisa, n'awola;
N'ezzadde lye liweebwa omukisa.
27 #
Zab 34:14; 102:28 Ovenga mu bubi, okolenga obulungi;
Obeerengawo emirembe n'emirembe.
28 #
Zab 11:7; 21:10, Is 14:20 Kubanga Mukama ayagala ensonga,
Era taleka batukuvu be;
Bakuumibwa emirembe gyonna:
Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa.
29Abatuukirivu balisikira ensi,
Banaagibeerangamu emirembe gyonna.
30Akamwa k'omutuukirivu koogera eby'amagezi,
N'olulimi lwe lubuulira ensonga.
31 #
Zab 40:8; 119:11, Is 51:7, Yer 31:33 Amateeka ga Katonda we gabeera mu mutima gwe;
Mu lugendo lwe lwonna taaseererenga.
32Omubi atunuulira omutuukirivu,
Ng'ayagala okumutta.
33 #
Zab 109:31
Mukama talimuleka mu mukono gwe,
So talimusinza bw'alisalirwa omusango.
34 #
Zab 27:14; 91:8 Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye,
Naye alikugulumiza okusikira ensi:
Ababi bwe balizikirizibwa oliraba.
35 #
Yob 5:3; 20:5, Zab 52:8 Nalaba omubi ng'alina obuyinza obungi,
Era ng'agulumidde ng'omuti ogumeze ku ttaka lyagwo.
36Naye bwe baayita, laba, taliiwo:
Era namunoonya, naye teyalabika.
37 #
Zab 119:165, Is 32:7 Weekalirizenga oyo atuukiridde, olabenga ow'amazima:
Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe.
38 #
Nge 2:22
Aboonoonyi, bo balizikirizibwa bonna:
Enkomerero ddala ey'omubi erizikirizibwa.
39 #
Zab 3:8; 9:9, Is 12:2 Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama:
Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
40 #
1 Byom 5:20, Is 31:5, Dan 3:17, Bik 12:11 Era Mukama abayamba, n'abawonya:
Abawonya eri ababi, n'abalokola,
Kubanga beeyunye oyo.
Currently Selected:
Zabbuli 37: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.