YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 36

36
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi omuddu wa Mukama.
1 # Bar 3:18 Ekyonoono ky'omubi kyogerera mu mutima gwange nti
Tewali kutya Katonda mu maaso ge.
2 # Ma 29:19 Kubanga yeenyumiririza mu maaso ge ye,
Ng'obutali butuukirivu bwe tebulirabika ne bukyayibwa.
3 # Zab 12:2 Ebigambo eby'akamwa ke bwe butali butuukirivu n'obulimba:
Alese okuba n'amagezi n'okukola obulungi.
4 # Is 65:2, Mi 2:1 Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye;
Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi;
Takyawa bubi.
5 # Zab 57:10; 89:2 Ekisa kyo, ai Mukama, kiri mu ggulu;
Obwesige bwo bubuna ebbanga.
6 # Yob 11:8, Zab 71:19; 92:5; 104:14,15, Bar 11:33 Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi za Katonda;
Emisango gyo bwe buziba obunene:
Ai Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo.
7 # Zab 17:8; 31:19 Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi!
Era abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo.
8 # Zab 16:11; 46:4; 65:4, Is 25:6, Kub 22:1 Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo.
Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo.
9 # Yer 2:13, Yok 1:9; 4:10,14, Bik 26:18, 1 Peet 2:9, Kub 21:6 Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu:
Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.
10 # Yer 22:16 Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya;
N'obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima ogw'amazima.
11Toganya kigere kya malala okunjijirako,
Newakubadde omukono gw'omubi okungoba.
12 # Zab 1:5 Eri gye bagudde abakola obutali
butuukirivu;
Bameggeddwa wansi, so tebaayinzenga kuyimuka.

Currently Selected:

Zabbuli 36: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in