Zabbuli 38
38
Zabbuli ya Dawudi, ey'okujjukiza.
1 #
Zab 6:1
Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo:
So tombuuliririra mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2 #
6:4, Zab 32:4 Kubanga obusaale bwo bunkwatidde ddala,
N'omukono gwo gunnyigirizza nnyo.
3 #
Zab 31:10, Is 1:6 Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo;
So temuli kuwona mu magumba gange olw'okwonoona kwange.
4 #
Ezer 9:6
Kubanga obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange.
Ng'omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.
5Ebiwundu byange biwunya era bivunze,
Olw'obusirusiru bwange.
6 #
Zab 35:14, Is 21:3 Nnumiddwa, nkutamizibbwa nnyo;
Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.
7 #
Zab 38:3
Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya;
So temuli bulamu mu mubiri gwange.
8Nnyongobera, mmenyesemenyese:
Mpulugumye olw'okweraliikirira kw'omutima gwange.
9Mukama, bye njagala byonna biri mu maaso go;
N'okusinda kwange tekukukisibwa.
10 #
Zab 6:7
Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu:
Omusana ogw'amaaso gange, era nagwo gumbuze.
11 #
Zab 88:10, Mak 15:40, Luk 10:31,32 Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange;
Ne baganda bange bayimirira wala.
12 #
2 Sam 16:7,8; 17:1,3, Zab 35:20, Mak 12:13 Era n'abo abanjigganya obulamu bwange banteega;
N'abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby'ettima,
Era balowooza eby'obulimba obudde okuziba.
13 #
Zab 39:2,9, Is 53:7, 1 Peet 2:23 Naye nze, ng'omuzibe w'amatu, ssiwulira;
Era nninga omusiru atayasama kamwa ke.
14Mazima, nninga omuntu atawulira,
Ne mu kamwa ke temuli kunenya.
15 #
2 Sam 16:12, Zab 39:7 Kubanga eri ggwe, ai Mukama, gye nsuubira:
Oliddamu, ai Mukama Katonda wange.
16 #
Zab 13:4
Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako:
Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako.
17 #
Yer 20:10
Kubanga nze ndi kumpi n'okuwenyera,
N'ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo.
18 #
Zab 32:5, 2 Kol 7:9,10 Kubanga naayatulanga obutali butuukirivu bwange;
Naanakuwalanga olw'okwonoona kwange.
19Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi:
N'abo abankyawa olw'obulimba beeyongedde.
20 #
Zab 35:12; 109:4 Era n'abo abasasula obubi olw'obulungi
Be balabe bange, kubanga ngoberera ebigambo ebirungi.
21 #
Zab 22:11
Tondeka, ai Mukama:
Ai Katonda wange, tombeera wala.
22 #
Kuv 15:2, Zab 40:13, Is 12:2 Yanguwa okunnyamba,
Ai Mukama, obulokozi bwange.
Currently Selected:
Zabbuli 38: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.