1
Zabbuli 37:4
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Era sanyukiranga Mukama: Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba.
Compare
Explore Zabbuli 37:4
2
Zabbuli 37:5
Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga.
Explore Zabbuli 37:5
3
Zabbuli 37:7
Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza: Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi.
Explore Zabbuli 37:7
4
Zabbuli 37:3
Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa.
Explore Zabbuli 37:3
5
Zabbuli 37:23-24
Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama; Era asanyukira ekkubo lye. Newakubadde ng'agwa, talisuulirwa ddala wansi: Kubanga Mukama amunyweza n'omukono gwe.
Explore Zabbuli 37:23-24
6
Zabbuli 37:6
Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana, N'omusango gwo ng'ettuntu.
Explore Zabbuli 37:6
7
Zabbuli 37:8
Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi: Teweeraliikiriranga; okwagala obwagazi okuleta obubi.
Explore Zabbuli 37:8
8
Zabbuli 37:25
Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.
Explore Zabbuli 37:25
9
Zabbuli 37:1
Teweeraliikiriranga lw'abo abakola obubi, So tokwatibwanga buggya ku abo abakola ebitali bya butuukirivu.
Explore Zabbuli 37:1