YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 35

35
Zabbuli ya Dawudi.
1 # Kuv 14:25, Is 49:25 Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange:
Lwana n'abo abalwana nange.
2Kwata engabo n'akagabo,
Oyimirire okunnyamba.
3Era sowola n'effumu, ozibire
ekkubo abo abanjigganya:
Ogambe emmeeme yange nti Nze bulokozi bwo.
4 # Zab 35:26; 40:14; 70:2; 71:13 # Zab 69:22-28; 109:6-15 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe
abanjigganya emmeeme yange:
Bazzibwe ennyuma beeraliikirizibwe abateesa okunkola obubi.
5 # Yob 21:18 Babeere ng'ebisusunku ebitwalibwa n'empewo,
Era malayika wa Mukama ng'abagoba.
6 # Zab 73:18, Yer 23:12 Ekkubo lyabwe libeere ekizikiza
n'obuseerezi.
Era malayika wa Mukama ng'abayigganya.
7Kubanga awatali nsonga bankisizza
mu bunnya ekyambika kyabwe,
Awatali nsonga basimidde emmeeme yange.
8 # Zab 7:15, Nge 5:22, 1 Bas 5:3 Okuzikirira kumujjeko nga talaba;
N'ekyambika kye kye yakisa kimukwate ye yennyini:
Akigwemu n'okuzikirira.
9 # Zab 9:14, Is 61:10, Luk 1:47 N'emmeeme yange erisanyukira Mukama:
Erijaguliza obulokozi bwe.
10 # Zab 51:8; 71:19; 86:8 Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe,
Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi,
Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga?
11 # Zab 27:12 Abajulirwa abatali batuukirivu bagolokose;
Bambuuza ebigambo bye ssimanyi.
12 # Zab 38:20, Yer 18:20 Bansasula obubi ku lw'obulungi,
Okweraliikiriza emmeeme yange.
13 # 1 Bassek 20:31, Yob 30:25, Zab 69:10,11, Mat 10:13 Naye nze, bwe baalwala, nayambala bibukutu:
Ne nteganya emmeeme yange n'okusiiba;
N'okusaba kwange ne kudda mu kifuba kyange.
14 # Zab 38:6 Ne mba nga bwe nnaakubadde singa yali mukwano gwange
oba muganda wange:
Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina.
15Naye bwe nnawenyera nze, ne basanyuka, ne bakuŋŋaana:
Abagwagwa ne bankuŋŋaanirako, ne ssimanya;
Ne banjuza, ne batalekaayo:
16 # Zab 37:12 Ng'abo abatatya Katonda abaduula mu mbaga,
Bwe baaluma obujigi bwe batyo, nga bansunguwalira.
17 # Zab 22:20, Kaab 1:13 Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi?
Wonya emmeeme yange mu kuzikiriza kwabwe,
Kaganzi kange mu mpologoma.
18 # Zab 22:22,25 Ndikwebaliza mu kibiina ekinene:
Ndikutenderereza mu bantu abangi.
19 # Zab 69:4, Yok 15:25 Abo abalabe bange baleme okunsanyukirako n'obulimba:
Era abankyawa awatali nsonga baleme okutemya ekikowe.
20Kubanga teboogera mirembe:
Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abatereera mu nsi.
21 # Zab 22:13; 70:3 Era banjasaamiririra ddala akamwa kaabwe;
Ne boogera nti Ggwe, ggwe, eriiso lyaffe lyakiraba.
22 # Kuv 3:7, Zab 10:1; 28:1 Ggwe wakiraba, ai Mukama; tosirika:
Ai Mukama, tombeera wala.
23 # Zab 7:6; 44:23 Golokoka, ozuukuke okunsalira omusango,
Era olw'ensonga yange, Katonda
wange era Mukama wange.
24 # Zab 7:8; 35:19 Onsalire omusango, ai Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli;
So tobaganya kunsanyukirako;
25 # 2 Sam 17:16, Kung 2:16 Baleme okwogera mu mutima gwabwe nti Bw'otyo! bwe twagala bwe tutyo:
Baleme okwogera nti Tumumize bugobo.
26 # Yob 8:22; 19:5, Zab 35:4 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna abasanyukira nze okulaba akabi:
Bambale ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako.
27 # Zab 40:16; 70:4 Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu:
Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe,
Asanyukira omukisa ogw'omuddu we.
28 # Zab 51:14; 71:24 N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
Ne ku ttendo lyo obudde okuziba.

Currently Selected:

Zabbuli 35: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in