Zabbuli 34
34
Zabbuli ya Dawudi; bwe yawaanyisa empisa ze mu maaso ga Abimereki, eyamugoba, n'agenda.
1Neebazanga Mukama mu biro byonna:
Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.
2 #
Zab 44:8, Yer 9:24, 1 Kol 1:31 Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama:
Abawombeefu baliwulira, balisanyuka.
3 #
Zab 69:30, Luk 1:46 Mumukuze Mukama wamu nange,
Tugulumize erinnya lye fenna.
4 #
Zab 18:6, Mat 7:7 Nanoonya Mukama, n'anziramu,
N'andokola mu kutya kwange kwonna.
5Baamutunuulira, ne balaba omusana:
Era amaaso gaabwe tegaakwatibwenga nsonyi emirembe gyonna.
6 #
2 Sam 22:1
Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira,
N'amulokola mu nnaku ze zonna.
7 #
Lub 32:1,2, 2 Bassek 6:17, Dan 6:22, Beb 1:14 Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola.
8 #
Zab 2:12, Beb 6:5, 1 Peet 2:3 Mulege mutegeere Mukama nga mulungi:
Aweereddwa omukisa oyo amwesiga.
9 #
Baf 4:19
Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be:
Kubanga tebabulwa kintu abamutya,
10 #
Yob 4:10,11, Zab 84:11 Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala:
Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.
11 #
Zab 66:16
Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire:
Naabayigirizanga okutya Mukama.
12 #
1 Peet 3:10-12
Muntu ki ayagala obulamu,
Era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi?
13 #
Zab 15:3; 141:3, Yak 1:26, 1 Peet 2:1,22, Kub 14:5 Ziyizanga olulimi lwo mu bubi,
N'emimwa gyo obutoogeranga bukuusa.
14 #
Zab 37:27, Bar 12:18; 14:19, 3 Yok 11 Va mu bubi, okolenga obulungi;
Noonyanga emirembe, ogigobererenga.
15 #
Zab 33:18, Yok 9:31 Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu,
N'amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 #
Zab 33:18, Yok 9:31 Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi,
Amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi.
17Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira,
N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna.
18 #
Zab 51:17, Is 61:1; 66:2 Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese.
Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.
19 #
Zab 34:6, Bik 12:11, 1 Tim 3:11,12 Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi:
Naye Mukama amulokola mu byonna.
20 #
Kuv 12:46, Yok 19:36 Akuuma amagumba ge gonna:
Linnaago erimu terimenyeka.
21 #
Zab 7:15,16; 94:23 Obubi bulitta omubi:
N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.
22 #
Zab 25:22; 103:4, Bar 8:33,34 Mukama anunula emmeeme y'abaddu be:
So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.
Currently Selected:
Zabbuli 34: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.